ENTEEKATEEKA y'omusomo gwa Pakasa Forum ogw’omulundi ogw’e 12, eri mu ggiya.

Felix Osike ng'annyonnyola
Gutegekebwa Vision Group era ng' abaguvujjiridde kuliko aba Centenary Bank, aba Pearl Bank, minisitule y'ebyensimbi, ekitongole ekiwooza emisolo ekya URA, Global Entrepreneur network n'abalala.
Gwakutandika ssaawa 2:00 ez’oku makya okutuuka ku ssaawa11:00 ez’olweggulo era nga mu bubaka bwe obumusomeddwa omumyuka w'omukung’aanya w'amawulire ow’oku ntikko mu Vision Group Felix Osike, akulira kkampuni eno Don Wanyama, agambye nti guno mukisa eri abo abalina bu bizinensi obutono n'abaabutandika nga kyakubayamba okwongera okuyiga.
Ye Moses Mulondo akulira omuko gwa Pakasa mu lupapula lwa The New vision naye akunze abantu okujja mu bungi.

Pulogulaamu Ya Pakasa Nga Bw'egenda Okubeera
Ronald Mukasa okuva mu Enterprise Uganda, awagenda okubeera omusomo guno, naye ayiseeyise mu ebyo ebigenda okukolebwa.
Abamu ku bavujjirizi bagambye nti abanajja, baakuganyulwa mu musomo guno, kubanga mulimu abakugu mu kuteekateekeka bizinensi, okuzirabirira, abazirina okubawa amagezi, okunoonya obutale, okumanya gye beewola ssente n'okufuna amagezi ag’ekikugu n'ebirala bingi ng'omwogezi wa URA Robert Kalumba bwe yannyonnyodde.

Aba Centenary Bank Baawaddeyo Obukadde 30 Bwe Ddu Eri Omwoleso Guno