Amawulire

Embizzi gwe yalumako omukono n'okugulu ayagala kuba looya ng'ebya S6 by'atudde olwaleero bikomyewo

Amos Mukhwana, nnyina yamutegeeza nti ekyamuviirako obulemu bw’obutabeera na mukono ogwa ddyo n’okugulu, kyava ku mbizzi eyamulumba nga bbujje mu 2004

Embizzi gwe yalumako omukono n'okugulu ayagala kuba looya ng'ebya S6 by'atudde olwaleero bikomyewo
By: Andrew Nakhaboya, Journalist @New Vision

Omuyizi eyasimattuka okuliibwa embizzi eyamulumba nga wa myezi ebiri gyokka y’omu ku batudde ebya S6 leero e Bududa n’ategeeza nti ekirooto kye kyakubeera looya awolereze abataliiko mwasirizi.

Mukhwana bw'afaanana.

Mukhwana bw'afaanana.

Amos Mukhwana, nnyina yamutegeeza nti ekyamuviirako obulemu bw’obutabeera na mukono ogwa ddyo n’okugulu, kyava ku mbizzi eyamulumba nga bbujje mu 2004 bwe yali amulese mu buliri okunoonya ekyokulya, n’emuwalula paka mu lusuku okukkakkana ng'emulumyeko omukono n'okugulu kyokka Katonda n'azza bibye n'asigaza obulamu.

Ono embeera eno eyamutuukako agamba nti yavaako ne bakadde be okwawukana, n'asigala ng'alabirirwa jjajja we omusajja kyokka naye n'afa mu 2013 nga wa myaka 9 gyokka nga tannatandika na kusoma! 

Wabula, Katonda nga bw'ateerabira babe, omu ku b'enganda ze eyali yawasa mwannyina wa jajja we omusajja amanyiddwa nga, Michael Wanditi Watalunga, yajja n'amuyamba n'amutwala ku ssomero okutandika okusoma ng'ategedde obuzibu obwali mu mwolekedde.

Ayagala asome amateeka awolereze abantu abaliko obulemu ku mibiri gyabwe abatalina mwasirizi.

Mukhwana muyizi ku Hawthorne Scribner High School e Buduuda era akola amasomo okuli Divinity,  Entrepreneurship, Art ne ICT

 

Tags:
Mbizzi
Kugulu
Looyua
Bibuuzo
Looya
Muyizi