MTN Uganda etongozza enkola empya ey’ennaku enkulu eyitibwa MTN Kamata X-mas, n'ekigendererwa eky'okuddiza ku bakasitoma baayo mu biseera bino ebya Ssekukkulu.
Enkola eno yatongozeddwa kitunzi omukulu owa kkampuni eno Joseph Bogere nga asinziira ku offiisi zaabwe mu Kampala .
Yannyonyodde nti Bannayuganda babawagidde n'omutima gumu mwaka ku mwaka kye bavudde nabo basalawo okubaako kye babaddiza naddala mu biseera bino eby'ennaku enkulu.
Ebirabo ebiri mu 'Kamata X-mas' mulimu okuwangula emmotoka za Toyota Probox (2 buli wiiki), TukTuk (2 buli wiiki), ensimbi z’obupangisa bw’ennyumba ez’omwaka mulamba (abawanguzi 28), amasimu ga Kabode Smartphone (28), ssente za MoMo UGX 500,000 (abawanguzi 28), n’obubonero bwa Senkyu emitwalo 10 abawanguzi 28 so nga ate era wajja kubaawo n'abawangula 10,000 buli lunaku.
Okwetaba mu kuwangula ebirabo bino weetaga okubaako " bundle" gy'ogula ku ssimu yo okuviira ddala ku nnusu 500 okudda waggulu olw'ensonga nti buli gy'ogula ekuwa omukisa okwetaba mu kalulu .