Amawulire

OMUSUMBA w’Essaza lye Lira Bp. Sanctus Lino Wanok alondeddwa nga ssentebe w’olukiiko lw’Abasumba abakatulik

OMUSUMBA w’Essaza lye Lira Bp. Sanctus Lino Wanok alondeddwa nga ssentebe w’olukiiko lw’Abasumba abakatuliki mu ggwanga olwa Uganda Episcopal Conference.

Bp. Sanctus Lino Wanok alondeddwa nga ssentebe w’olukiiko lw’Abasumba abakatuliki mu ggwanga
By: Nsimbi Ponsiano, Journalist @New Vision

OMUSUMBA w’Essaza lye Lira Bp. Sanctus Lino Wanok alondeddwa nga ssentebe w’olukiiko lw’Abasumba abakatuliki mu ggwanga olwa Uganda Episcopal Conference.
Ono nga yaabadde omumyuka wa w’omusumba w’Essaza lye Mityana Bp.Dr.Joseph Anthony Zziwa gwadidde mu bigere oluvannyuma lw’okumala ekisanja kye eky’emyaka ena.

Olukiiko luno lwe lugatta abasumba b’Eklezia mu ggwanga lyonna ng’ekitebe kyalo ekikulu kiri Nsambya.
Amawulire gw’okulondebwa kwa Bp. Lino ku kifo kino gakakasiddwa akulira ebyamawulire ku kitebe kya Uganda Episcopal Conference e Nsambya Rev. Fr. Phillip Odii.
Fr. Odii ategeezeezza nti Bp. Wanok agenda ku myukibwa ssaabasumba we Mbarara Bp. Lambert Bainomugisha.
EBIKWATA KU MUSUMBA ONO ALONDEDDWA KU BWA SSENTEBE 
Rt.Rev. Sanctus Wanok Lino yazaalibwa April 7,1957 ku kyalo Ukuru Pamach mu disitulikiti ye Zombo mu West Nile mu kigo kye Warr mu ssaza lye Nebbi. 
Yafuna obudyankoni nga Augusy 31,1986 ku kigo kye Idiofe ate nga September 27, 1986 nafuna obusaserdooti ku kigo kye War nga bwamuwebwa omusumba Fred Drandua.
Mu 2005, yalondebwa okubeera Viika Genero w’Essaza lye Nebbi, nga February 8,2011 Paapa Benendict XIV yamulonda ng’omusumba ow’okusatu ow’esazza lye Nebbi.
Nga November23,2018 Paapa Francis yamulonda okubeera omusumba W’Essaza lye Lira natuuzibwa nga February 9,2019 ng’adda mu bigere by’omusumba Guiseppe Franzelli ng’omusumba ow’okuna ow’Essaza lye Lira.
Mu November wa 2022 mu ttabamiruna w’abasumba yalondebwa okubeera omunyuka wa ssentebe w’olukiiko lw’abasumba ng’amyuka omusumba Zziwa okutuusa leero

Tags: