Amawulire

Muzeeyi Magala omusango omulala gwa bukadde 300 gumutadde ku bunkenke

EBYA Muzeeyi Aggrey Magala Tazzibwawo, ow’e Bunyaaka mu Luweero tebinnaggwa.  Gwe baakuba amasasi ku biragiro bye kati ayagala obukadde 300 ez’okumuliyirira olw’obuvune obwamutuusibwako.

Muzeeyi Magala omusango omulala gwa bukadde 300 gumutadde ku bunkenke
By: Lawrence Kizito, Journalist @New Vision

EBYA Muzeeyi Aggrey Magala Tazzibwawo, ow’e Bunyaaka mu Luweero tebinnaggwa.  Gwe baakuba amasasi ku biragiro bye kati ayagala obukadde 300 ez’okumuliyirira olw’obuvune obwamutuusibwako.

Akandwanaho Alumiriza Muzeeyi Magala.

Akandwanaho Alumiriza Muzeeyi Magala.


Ng’oggyeeko omusango gwa nnaggomola ogw’okugezaako okutta omuntu gwe baasingisizza Magala ku Lwokuna lwa wiiki ewedde, mu kkooti e Luweero waliyo omusango omulala ogw’engassi ogwawaabwa Andrew Akandwanaho eyakubwa amasasi ng’ayagala Magala ne banne bamuliyirire obukadde 300, olw’obulumi n’okufiirizibwa kwayiseemu okuva lwe yakubwa Amasasi.


Mu musango guno oguli ku Fayiro DRFT – HCT – 17-CVCS-0007-2023, mu kkooti e Luweero, Akandwanaho yawaabira kkampuni ya New Uganda Securiko Limited, Magala Tazzibwawo, Omara Daniel ne Ssekiranda.

 

Ayagala bamuliyirire olw’okwenyigira mu kavuyo mwe baamukubira amasasi mu kugulu, agamulemaza nga n’okutuusa olwaleero atambulira ku miggo.

 

Kkampuni ya New Uganda Securiko Limited ye yali ekozesa Daniel Omara, eyanyiga emmanduso, n’akuba Akandwanaho amasasi ku biragiro bya Magala. Magala ye yatwala aba Securiko ku ttaka gye baakubira Akandwanaho, ng’ali ne mukwano gwe Ssekiranda.

Muzeeyi Magala

Muzeeyi Magala

Wiiki ewedde, kkooti yasingisizza Magala omusango gw’okugezaako okutta Akandwanaho, kyokka omulamuzi n’agamba nti tagenda kumuwa kibonerezo kya kumusiba mu kkomera, kubanga si ye yanyiga emmanduso okwava amasasi agakwata Akandwanaho mu kugulu.

 

Omulamuzi Esther Adikini, yawadde Magala ekibonerezo kya kusasula obukadde busatu, ng’engassi ya kkooti, era n’amulagira aliyirire Akandwanaho eyakubwa amasasi mu kugulu obukadde 30.

 

Kati Akandwanaho agamba nti essuubi lye ery’okufuna ku ssente ezeegasa, okusobola okuzzaawo obulamu bwe, limuli mu musango guno ogw’engassi, nga mu kiseera kino kkooti eri mu kuwuliriza bujulizi okuva mu bantu abaaliwo ng’ensasagge eno ebaawo.

 

Okusinziira ku bujulizi obwaleetebwa mu kkooti, nga April 13, 2022, ku ssaawa 10:00 ez’akawungeezi, Magala yatuuka ku ttaka lye yali akaayanira, ku kyalo Kanyale, ekisangibwa mu ggombolola y’e Wakyato mu disitulikiti y’e Nakaseke, ng’ali n’abakuumi aba Securiko, n'ekibinja ky’abavubuka abalala.

 

Magala yali agenze kwerula mpenda, era n’abapunta yali nabo. Wabula ettaka lino lyaliko ffaamu y’omugenzi Christopher Obey, eyali omubazi w’ebitabo omukulu mu minisitule y’abakozi ba gavumenti, n’omugenzi Japians Oloka, abaali baakafa.

 

Bwe baatuukayo, baasangayo abakozi abaali bakulirwa Andrew Akandwanaho, kw'ossa abakuumi. Bwe baalaba Magala ne banne nga batandise okupunta, ttiimu ya Akandwanaho n’esembera ne wabaawo okuwaanyisiganya ebisongovu.

 

Ebyali ebigambo, byavaamu  okulwanagana, okukkakkana nga Magala alagidde owa Securiko gwe yajja naye, okukuba amasasi, era bwatyo n’akuba Akandwanaho amasasi mu kugulu.

 

Munne wa Akandwanaho bwe baakolanga ku ffaamu eno, Ahmed Sserunjogi, yagambye nti bwe batunulamu, okusinziira ku bantu abali ku fayiro, Magala gwe balabamu obusobozi okusasula Akandwanaho ssente zino, nga beesigama ku nkola y’amateeka gye bayita Deep Pocket Theory, egamba nti kkooti ebiseera ebisinga essira ly’okuliyirira eriteeka ku muntu alina obusobozi, okusinga oyo atalinamu ssente wadde ng’omusango yaliko ku baaguzza.

Tags:
Magala
Muzeeyi
Musango
Kkooti