Amawulire

GAVUMENTI erangiridde nga bw’egenda okwongera amaanyi mu kulwanyisa ekirwadde kya fisitula

GAVUMENTI erangiridde nga bw’egenda okwongera amaanyi mu kulwanyisa ekirwadde kya fisitula mu bakyala kisobole okufuuka olufumo mu ggwanga.

Akulira Terrewode Alice Emasu Seruyange (mu kiragala) ng'ali wamu n'abamu ku bakwatibwako mu kutangira ekirwadde kino
By: Ssekaggo Emmanuel, Journalist @New Vision

GAVUMENTI erangiridde nga bw’egenda okwongera amaanyi mu kulwanyisa ekirwadde kya fisitula mu bakyala kisobole okufuuka olufumo mu ggwanga.
Bino byayogeddwa kamisona okuva mu minisitule y’ebyobulamu Richard Mugahi bweyabadde akiikiridde minisita omubeezi ow’ebyobulamu Charles Ayume ku mukolo ekitongole ekikola ogw’okulwanyisa ekirwadde kino mu ggwanga ekimanyiddwa nga Terrewode kwekyajagulizza okuweza emyaka 20 nga gubadde Kira mu disituliti ye Wakiso.

Richard Mugahi ali mu bbulu, ng'atongoza enkola y'okuyambako abantu abawonye fisitula okusobola okutebenkera obulungi mu bitundu byabwe. Ow'okusatu ku ddyo ye Alice Emasu

Richard Mugahi ali mu bbulu, ng'atongoza enkola y'okuyambako abantu abawonye fisitula okusobola okutebenkera obulungi mu bitundu byabwe. Ow'okusatu ku ddyo ye Alice Emasu


Mugahi yasiimye emirimu egikoleddwa aba Terrewode ogw’okujanjaba abakyala abalina Fisitula okwetoloola eggwanga n’agamba nti bano batadde ettoffaali ddene nnyo ku by’obulamu by’abakyala era bangi babaweera obujulizi.
Yatenderezza enkola aba Terrewode gyebaatongozza ey’okusomesa abantu abawangaalira mu kitundu ekimu engeri gyebasobola okuyambako abakyala naddala abajanjabiddwa fisitula okusobola okuddamu okufuna obulamu obulungi n’agamba nti kuno kubadde kusoomozebwa kwa maanyi ng’abantu abamu babadde bawona fisitula bebaboolebwa mu kitundu ekintu ekitali kituufu.

Richard Mugahi ali mu bbulu, ng'atongoza enkola y'okuyambako abantu abawonye fisitula okusobola okutebenkera obulungi mu bitundu byabwe. Ow'okusatu ku ddyo ye Alice Emasu

Richard Mugahi ali mu bbulu, ng'atongoza enkola y'okuyambako abantu abawonye fisitula okusobola okutebenkera obulungi mu bitundu byabwe. Ow'okusatu ku ddyo ye Alice Emasu


Ono yeyamye nti Gavumenti egenda kwongera amaanyi mu kujanjaba ekirwadde kya fisitula naddala ng’etekawo enkola ezitangira abakyala okufuna obulwadde buno ate n’okuyamba abaaba babufunye okulaba nga bawona bulungi era nebaddamu okweyagalira mu ggwanga lyabwe.
Akulira eddwaliro lya Terrewode Alice Emasu Seruyange yagambye nti mu bbanga lyebaamaze nga bajanjaba fisitula mu bakyala, bakizudde nti ebitundu gyebabeera bikola kya maanyi nnyo mu kuwona kwabwe n’okubasobozesa okudda mu mbeera ennungi.

Abamu ku bakwatibwako mu kujanjaba fisitula nga bakasa kkeeke ku Terrewode. Wakati ye Richard Mugahi ate amuddiridde ku ddyo ye Alice Emasu

Abamu ku bakwatibwako mu kujanjaba fisitula nga bakasa kkeeke ku Terrewode. Wakati ye Richard Mugahi ate amuddiridde ku ddyo ye Alice Emasu


Yagambye nti eno ye nsonga lwaki baasazeewo okutongoza enkola y’okukwatagana n’abantu okuva mu bitundu eby’enjawulo eby’eggwanga okusobola okuyambako abo abajanjabiddwa ekirwadde kino okuddamu okubukala mu byalo byabwe nga bekkiririzaamu ate n’okweyimirizaawo obulungi mu by’enfuna.
Doreen Baheka eyakiikiridde minisitula y’ekikula ky’abantu ku mukolo guno yagambye nti okusinziira ku kunoonyereza okukoleddwa, kizuuse nti obutabanguko mu maka kyekimu ku bivaako emboozi ya fistula okutawaanya abakyala era n’akakasa nti minisitule gy’akolamu ya kukolagana n’aba Terrewode mu kulwanyisa ekirwadde kino.
Ku mukolo guno, abantu ab’enjawulo baawadde obujulizi nga bwebaasimattuka ekirwadde kino era nebasaba Bannayuganda bonna okufuba okwewala embeera eyinza okubaviirako okukwatibwa ekirwadde kino.
Tags: