Amawulire

Makanika asangiddwa attiddwa e Ggangu!

ABATUUZE b’e Masajja baakeeredde mu ntiisa oluvannyuma lw’okugwa ku mulambo gwa munnaabwe nga yattiddwa.

Makanika asangiddwa attiddwa e Ggangu!
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABATUUZE b’e Masajja baakeeredde mu ntiisa oluvannyuma lw’okugwa ku mulambo gwa munnaabwe nga yattiddwa.

 

Bino byabadde mu Gangu C e Masajja mu Makindye Ssaabagabo abatuuze bwe baasanze omulambo gwa Mahad Katumba mu muzigo mw’abadde asula nga guli mu kitaba ky’omusaayi nga guliko n’ekiwundu ku mutwe.

 

Kyaddiridde baliraanwa okulaba oluggi lwe nga luggule kyokka nga tebamulaba, kwe kutegeeza landiroodi eyayise poliisi y’e Kibiri eyakulembeddwa agikulira, Hellen Mutono ne bakebera mu nnyumba gye baagwiridde ku mulambo gwe.

 

Katumba abadde makanika mu ggalagi mu Wansanso zooni e Kibuye nga kigambibwa yabadde yaakagula essimu ekika kya iPhone era mu nnyumba essimu tebaagisanzeemu ssaako ebintu ebirala. Poliisi omulambo yagututte mu ggwanika e Mulago.

Tags:
Ggangu
Masajja
Kitalo
Makanika

Emboozi Ezifanagana