Oweebyokwerinda ku lukiiko lwa LC1 agambibwa okukuba obubi omuvuzi wa bodaboda, poliisi emukutte.
Akatambi nga Wabomba agambibwa okuwalula n'okukuba omusajja ono, kaasaasaanidde emitimbagano era poliisi y’oku Mwenda e Bulenga n'emukwata.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala , Racheal Kawala, agambye nti ono yasoose kumutumya okuva ku stage gy'akolera era olwatuuse ku ofiisi, n'atandika okumutulugunya n'okumukuba. Okubuuliriza kugenda mu maaso.