Amawulire

Poliisi eyodde 33 abagambibwa okubba n'okukola effujjo mu kivvulu kya Nyege Nyege

Ekivvulu kino omwabadde abantu abasoba mu 5000, kyabaddewo okuva nga 19 , okutuuka nga 22 lwe kyakomekkerezeddwa wakati mu badigize okulya ssente n'okweyagala.

Poliisi eyodde 33 abagambibwa okubba n'okukola effujjo mu kivvulu kya Nyege Nyege
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU 33 abagambibwa okubba,  n'okwenyigira mu kukola efujjo, be baayoleddwa mu kivvulu kya Nyege nyege Festival e Kangulumira ku Kalagala Falls mu disitulikiti y'e Kayunga.

Abamu ku badigize nga banyeenya ku galiba enjole

Abamu ku badigize nga banyeenya ku galiba enjole

Ekivvulu kino omwabadde abantu abasoba mu 5000, kyabaddewo okuva nga 19 , okutuuka nga 22 lwe kyakomekkerezeddwa wakati mu badigize okulya ssente n'okweyagala.

 

Emisango egyasinze okuloopebwa, bwabadde bubbi bw'amasimu era nga emisango gyonna awamu, gyabadde 62. Essimu eziwera 21 ze zaazuuliddwa okuva ku babbi nga ku zino , 18 bannyini zo, baabafunye.

 

Ensonda mu poliisi zitegeezezza nti abantu 33 , be baayoleddwa mu bikwekweto mu kivvulu era nga bakyagenda mu maaso n'okubasunsulamu ku poliisi ez’enjawulo.

Tags:
Poliisi
Kuyoola
Kivvulu
Amawulire
Nyege Nyege
Misango