Minisita avunaanyizibwa ku by’amateeka, Norbert Mao, ayagala enkola y’okuwulira n’okusala emisango esimbulizibwe okutuuka ku byalo, abantu basobole okuwoza mu nnimi ze bategeera obulungi, ekigenda okwanguyiza abantu okufuna obwenkanya.
Okwogera bino abadde aggulawo wiiki y’ebyamateeka ku kizimbe kya JLOS House (Justice, Law and Order Sector), ekitongole ekirungamya ebitongole byonna ebikwata ku by’amateeka mu ggwanga, mwe bategekedde okuwuliriza ensonga eziruma abantu mu kitundu ky’e Naguru mu Kampala.

Moa n'abalala
Mao agamba nti enkola eno ejja kuyamba okukendeeza ku kulwawo kw’emisango mu kkooti, ate n’okukakasa nti abawaabi, abawaabirwa n’abawa amagezi mu by’amateeka bonna bategeera obulungi ensonga ze bawozesa.
Agamba nti ekitongole kya Judiciary wamu ne JLOS birina okukolagana ne Minisita wa gavumenti ezebitundu Hon. Balam Barugahare, okutalaaga ebitundu by’eggwanga bawulirize ebizibu abantu bye boolekagana nabyo mu by’obwenkanya.
Agamba nti abantu bangi babadde bafuna obuzibu olw’obutamanya mateeka, ekintu ekyasobozesanga bannamateeka abamu okubaggyamu ssente nnyingi nga babayamba okugonjoola emisango gyabwe.
Mao agamba nti abantu bajja kusooka kusomesebwa ku ngeri kkooti zino gye zikola, basobole okuzikozesa okugonjoola obutakkaanya obumu nga tebannaba kugenda mu kkooti ez’awaggulu, ezitwala ebbanga ddene okusalawo emisango.
Enteekateeka eno erimu essuubi ery’okusembeza obwenkanya eri abantu ba bulijjo, okukendeeza ku ssente n’obudde obusaasaanyizibwa mu misango, n’okukakasa nti buli Munnayuganda afuna obwenkanya awatali kusosolwa.