“Abazadde bangi ensangi zino beegumbulidde omuze gw’okulagajjalira n’okukweka abaana abaliko obulemu ate nga n’amasomero agamu gababoola kyokka nga singa babeera bafiiriddwako, abaana bano basobola okufuuka ab’omugaso mu egggwanga,” Dr. Charles Ayume, minisita omubeezi ow’ebyobulamu ebisookerwako era omubaka wa Palamenti owa munisipaali ya Koboko mu West Nile bw’agamba.
Ayume agamba nti abaana abaliko obulemu balina okuyisibwa ng’abaana abalala. Balina ttalanta n’ebintu ebirungi ebikusike kyokka beetaaga okwagalibwa n’okufiibwako okubaggyamu omulamwa.

Minisita Ayume (wakati) ne Pamela Titi Kakonge (ku ddyo) nga bali ku mukolo
Awa ekyokulabirako ky’omufuuyi w’omulele Caesar Kajura, eyazaalibwa n’obulemu. Abasawo baakatema bazadde be nti yali tasobola kubaako kye yeekolera. Kyokka mu kifo ky’okwekubagiza, nnyina wa Kajura yasalawo okwagala mutabani we n’okumufaako mu ngeri ez’enjawulo nga bw’ayambibwako abakugu okukkakkana ng’omwana atandise okutambula n’okusoma obulungi era kati yeeyimirizaawo ng’omuntu.
Bino Ayume yabyogeredde ku mukolo gw’okukuza abaana mu nsi yonna ogwabadde ku Tunaweza Children’s Center e Kiwatule mu Kampala. Olunaku luno lukuzibwa mu nsi yonna buli nga November 20. Aba Tunaweza baasazeewo kuluwaayo eri abaana abaliko obulemu wansi w’omulamwa; Ability beyond disability (Obusobozi obusukka ku buteesobola).
Emyaka gy’omwana egisooka ena, Ayume agamba nti gibeera gya kwegendereza nnyo era omwana aliko obulemu yeetaaga okwagalibwa n’okufiibwako ennyo. Naye kino kiva ku bazadde b’omwana okwagala omwana waabwe nga bwali.
Agamba nti abaana bangi bazadde baabwe babaleka waka nga bagenda okukyakala oba ku mikolo so nga nabo beetaaga okutambula basobole okunyumirwa nga balaba ebifo n’abantu abapya.

Omusawo Emmanuel Yiga ng'ayamba omwana aliko obulemu
Pamela Titi Kakonge omutandisi wa Tunaweza Children’s center yakkiriziganyizza ne minisita Ayume n’agamba nti abaana bonna beetaaga okwagalibwa, okuwulirwa n’okuweebwa omukisa okusoma n’okukula obulungi. Wabula yayongeddeko nti bazadde b’abaana abaliko obulemu naddala bamaama bayita mu kusoomoozebwa kungi. Bangi basosolwa, okusuulibwawo abaami baabwe kyokka nga n’ebyetaago by’abaana okuli obujjanjabi n’okusoma byabuseere.
Bino by’ebyamuviirako okutandikawo ekifo ekyo okusobola okuyamba abaana ab’ekikula ekyo nga bafuna okulabirirwa okwomulembe n’okusomesebwa ku muwendo omusaamusaamu. Agamba nti amasomero n’ebifo ebirabirira abaana abo bitono nnyo mu ggwanga era byabuseere nnyo