Amawulire

Engeri ennyangu ey’okusomesa abaana abaliko obulemu

Rebecca Nassuuna Mayanja omusomesa w’abaana abaliko obulemu ku Tunaweza Children's Centre e Kiwatule mu Kampala alabula abazadde n’abasomesa obutakaka baana baliko bulemu okusoma ng’abaana abalala. 

Emmanuel Yiga ng'akozesa omwana ekisesayizi
By: Ritah Mukasa, Journalist @New Vision

Rebecca Nassuuna Mayanja omusomesa w’abaana abaliko obulemu ku Tunaweza Children's Centre e Kiwatule mu Kampala alabula abazadde n’abasomesa obutakaka baana baliko bulemu okusoma ng’abaana abalala. 
Nassuuna agamba nti amasomero agasinga gagatta abaana abo mu balala olwo ne babakaka okusomera ku sipiidi emu ne bannaabwe. Era babateekako puleesa okuyita ebibuuzo bwe babigwa nga babayita abasiru kyokka ng’abaana abaliko obulemu balina ttalanta n’obusobozi bwabwe mu bintu ebyenjawulo. 

Nassuuna agamba nti abaana abo basaana kubeera mu masomero agaateekebwawo okubalabirira kyokka singa essomero eryabulijjo lisalawo okubawandiisa, abasomesa balina okusooka okwekenneenya buli mwana okumala omwezi mulamba. 
Kino kibayamba okuzuula amaanyi g’omwana, by’ayagala n’ebimusoomooza nga ku bino, omusomesa kw’alina okusinziira okutegeka engeri gy’alina okusomesa omwana oyo. 

Rebecca Nassuuna Mayanja ng'asomesa abaana abaliko obulemu ku Tunaweza Children's Center

Rebecca Nassuuna Mayanja ng'asomesa abaana abaliko obulemu ku Tunaweza Children's Center


 “Abaana abo tebalina kubeera ku ssomero kumalirayo biseera. Balina okuyiga ne bafuuka ab’omugaso,” bw’agamba. Wabula, okusoma kwabwe tekulina kukoma ku kubala, okwatula ennukuta n’okumanya langi. Wabula buli kye basoma balina okukikozesa mu bulamu bwabwe obwabulijjo.
Nassuuna agamba omwana ayanguyirwa okuyiga langi singa abeera azirabako ku bintu by’akozesa ng’engoye. Okugeza oyinza okumutwala ku kkeesi ye n’omulagira okuggyamu ekiteeteeyi ekimyufu oba ekya kyenvu. Tasobola kubyerabira. 
“Buli mwana alina okusoma n’ayiga yadde ng’aliko obulemu,” bw’agamba n’asaba amasomero okufaayo okuwandiisa abasomesa abalina obukugu mu baana abaliko obulemu. Kino kibanguyira okwawula abaana abo mu bannaabwe ne basobola okubayamba nga babasomesa ebibayamba era mu ngeri esaanidde.
Ye Emmanuel Yiga, omukugu mu by’okutereeza omubiri (physiotherapist) ayongerako nti abaana abo beetaaga okwekenneenyezebwa emibiri ne basobola okumanya ekisesayizi ezirina okubatereeza. Zino zibayamba okutambula, okweriisa, okutuula n’okweyamba mu bulamu obwabulijjo.
Wabula agamba ekisesayizi okukola obulungi kyetaaga obuguminkiriza n’okulemerako naddala ku ludda lw’omuzadde.
“Tukoze ku baana bangi wano ku Tunaweza Children’s Center ne batereera kyokka kino kiva ku bazadde baabwe naddala bamaama okubeera abamalirivu era beenyigira mu bulamu bw’abaana baabwe,” bw’agamba.
Tags: