Amawulire

Gen. Muntu awadde ensonga ttaano zaayagala zikolebweko balyoke balowooze ku kyokugabana obuyinza

GEN Mugisha Muntu ayogedde ensonga Ttaano gavumenti z'eteekwa okusooka okukolako bw'eba eyagala okuteseganya nabo ng'abali mu bibiina ebiri ku ludda oluvuganya.  

Gen. Mugisha Muntu ng'ayogera
By: James Magala, Journalist @New Vision
GEN Mugisha Muntu ayogedde ensonga Ttaano gavumenti z'eteekwa okusooka okukolako bw'eba eyagala okuteseganya nabo ng'abali mu bibiina ebiri ku ludda oluvuganya.
Gen. Mugisha Muntu ng'ayogera

Gen. Mugisha Muntu ng'ayogera

 
Muntu agambye nti ebibiina okuli;ekikye ekya ANT,NUP ne PFF baagala gavumenti esooke eyimbule abasibe b'eby'obufuzi bonna,ekkirize bannabyabufuzi b'oludda oluvuganya abadduka mu Ggwanga olw'okutya bakomewo mu mirembe,okuwa ebibiina by'obufuzi n'eby'obwannakyewa ekyanya okukola emirimo gyabyo,okussa ekitiibwa mu Ddembe ly'obuntu n'ebirala.
 
Bino Muntu abyogeredde mu lukungaana lwa Bannamawulire olutuuziddwa ku kitebe ky'ekibiina kye ekya ANT kisangibwa e Lungujja.
Tags: