Amawulire

Ebikwata ku Katikkiro wa Tooro omupya

OMUKAMA wa Tooro Edward Rukidi Nyabongo I alonze Omuhiikirwa omupya, Benard Tungwako okudda mu bigere bya Calvin Rwomiire, eyalekulidde nga yeekokkola entalo eziri mu Bukama.

Omukama Nyabong
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUKAMA wa Tooro Edward Rukidi Nyabongo I alonze Omuhiikirwa omupya, Benard Tungwako okudda mu bigere bya Calvin Rwomiire, eyalekulidde nga yeekokkola entalo eziri mu Bukama.
Omukama era yalonze ne baminisita abalala abagenda okumuyambako mu kiseera kino eky’okuddamu okuzimba Obukama, nga mwe mwabadde ne munnamawulire Charles Mwanguhya Mpagi eyalondeddwa nga Minisita w’ebyamawulire.


Okulangirira Katikkiro omupya ne baminisita, Omukama Nyabong yakukoledde mu lukiiko lw’Obukama olw’oku ntikko (Orukurato), olwatudde eggulo ku Mmande nga November 23, 2026 mu kibuga Fort Portal.
Tungwako yaliko Omuhikirwa wa Tooro wakati wa 2015 ne 2022, wansi w’obukulembeze bw’omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru IV.
Tungwako eyalondeddwa, mwana nzaalwa y’e Kitagwenda, era akoze emirimu egy’enjawulo, omuli n’obusuubuzi, era yaliko n’omukozi wa Gavumenti. Alabibwa ng’omuntu alina obumanyirivu mu nsonga z’Obukama bwa Tooro, bwe yaweereza okumala emyaka musanvu nga Muhiikirwa, era alina obusobozi okuwungula amayengo Obukama bwe galimu mu kiseera kino, olw’okwerumaaluma okutatadde.
Oluvannyuma lw’okulondebwa kw’Omukama Nyabongo, Tungwako yalondebwa ku kakiiko k’abantu 11 akawi k’amagezi eri Omukama Nyabongo ku nsonga z’Obukama mu kiseera eky’okukyusa obukulembeze okuva ku Oyo okudda ku Nyabongo.
Okulondebwa gwa Tungwako kuddiridde okulekulira kwa Rwomiire ku Lwomukaaga oluwedde, n’asonga ku kakundi k’abamu ku bakulembeze mu Bukama, akabadde keefunyiridde okumutyoboola nga bamung’oola ng’ayanja ensonga ze mu nkiiko z’Obukama, okumufutyanka n’okumulima empindi ku mabega, nga kaagala ave mu kifo kino, era bwe kyamususseeko n’asalawo alekulire.

Tungwako ng’ayogerako eri bannamawulire.

Tungwako ng’ayogerako eri bannamawulire.


Rwomiire yali yalondebwa Omukama Edward Rukidi Nyabongo I, agire ng’atwala mu maaso ofiisi y’Omuhikirwa gye yalimu ku mulembe gw’Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru IV, eyafa mu August w’omwaka guno.
Wabula nga tannalondebwa, Rwomiire yalina okusika omuguwa n’abamu ku bakulembeze mu Bukama, ng’entabwe yava ku ngeri gye yakwatamu ensonga oluvannyuma lw’okufa kwa Oyo. Rwomiire ne maama wa Oyo, Best Kemigisa baali bagamba nti Oyo yaleka omwana omulenzi anaamusikira, ekintu ab’olulyo Olulangira mu Tooro kye baawakanya ennyo, nga bagamba nti Oyo teyabalaga mwana n’omu.
Rwomiire yagambye ng’alekulira nti, yalumwa nnyo bwe baamumma omukisa okwogerako eri abakungubazi mu kukungubagira Oyo, era ne bamumma n’omukisa okwogera ku mukolo gw’okutuuza Nyabongo, ate ng’alaba yali wa nkizo nnyo ng’omuntu eyali addukanya gavumenti y’Obukama.
Tags: