Baddereeva 93 be bakwatiddwa mu kikwekweto kya kawunyemu ku wiikendi
Ate mu kikwekweto ekirala ekyakoleddwa ku baddereeva abavuga obubi, ne ku misango emirala, bayodde 2,832.
Abavuga ganyegenya baabadde 1,034, okuyisa obubi 413, abaataabadde na pamiti 246, n'emisango emirala.
Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, agambye nti ebikwekweto bigenda mu maaso okusobola okuyita obulungi mu nnaku enkulu.