Amawulire

Magufuli alese agasse Harmonize ne Diamond Platinum, abayimbi abamannya mu Tanzania

ABADDE Pulezidenti wa Tanzania John Pombe Joseph Magufuli agasse abayimbi ab‘amannya Diamond Platinumz ne Harmonize abamaze ebbanga nga tebakkaanya 

Magufuli alese agasse Harmonize ne Diamond Platinum, abayimbi abamannya mu Tanzania
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Asoma bino oyinza okuba towulira Lushwayiri naye oluyimba ‘Magufuli’ olwa Harmonize wali oluwuliddeko ate nga lukunyumira. Kigambibwa nti mu ddiiru y’oluyimba olwo, Magufuli yasasula Harmonize akawumbi kamu n’ekitundu.

Harmonize yali mu kibiina kya Diamond ekya WCB Wasafi n’akivaamu n’akola ekikye ekya Konde Music Worldwide era okuva olwo baali baafuuka kabwa na ngo. Wakati awo, nga bw’eri enkola y’abayimbi ne bannakatemba mu Uganda okuyingira ebyobufuzi, ne Tanzania bwe kiri nga kyasookera ku Professor Jay eyayingira Palamenti mu 2015 okukiikirira essaza ly’e Mikumi.

Professor Jay ye yayimba oluyimba lwa Sivyo Ndivyo ne Jose Chameleone mu 2007. Olw’amaanyi ge yaggya mu Palamenti, ekinyegenyege kyakwata Diamond eyeeraba nga y’asinga abayimbi b’e Tanzania amaanyi n’asalawo yeesimbe ku bwapulezidenti mu kisanja kya Magufuli ekyandibadde ekyokubiri mu 2020.

Magufuli lwe yasisinkana Diamond Platinum mu kunoonya akalulu omwaka oguwedde

Magufuli lwe yasisinkana Diamond Platinum mu kunoonya akalulu omwaka oguwedde

Nga kigudde mu matu ga Magufuli, yasooka kumuliisa kakanja omwali n’okuwera ttivvi ya Wasafi, Diamond gy’alinamu omukono okumala emyezi mukaaga lwa kussaako muyimbi ayambadde obukete.

Mu 2018, oluyimba ‘Mwanza’, Diamond lwe yakola ne muyimbi munne, Rayvanny nalwo lwawerwa nti lulimu ebikontana n’amateeka g’ennyimba ezirina okuyimbirwa e Tanzania.

Emirundi gyombi, Diamond abaddenga yeetonda wabula Magufuli ne bakimubalira nti bwe basigala ku mbiranye bw’etyo mu 2020 ayinza okumukuba akalulu ssinga anaaba amwesimbyeko kubanga muyimbi alina abawagizi bangi.

Abayimbi; Harmonize ne Diamond Platinum aboogerwako

Abayimbi; Harmonize ne Diamond Platinum aboogerwako

Wano we yava okumuyita ne bakkaanya, Diamond n’akuba n’ennyimba eziwaana ekibiina kya Chama Cha Mapinduzi (CCM), Magufuli mw’azze yeesimbirawo. Yakyusa n’oluyimba lwe olw’amaanyi, ‘Baba Lao’ n’alutuuma ‘Magufuli Baba Lao’ ekitegeeza Magufuli bboosi waffe, kwe kugamba Magufuli ekintu n’akitambuza bulungi. 

Wano Diamond we baamuweera ddiiru omwali n’okubeera ambasada w’eggwanga lye mu by’obulambuzi ne yeeyongera amaanyi wabula ate ne kinyiiza  Harmonize bwe batalima kambugu.

Kiki ekyaddirira? Harmonize yategeka okwesimba ku Magufuli era wadde nga byali bikyali bya kyama, Magufuli naye yamwanguyira n’amuyitiramu nga bwe kyetaagisa okukolera awamu okuzimba Tanzania.

Pulezidenti Magufuli bw'abadde afaanana

Pulezidenti Magufuli bw'abadde afaanana

Wano akasente kali akaayogeddwaako mu kusooka we keegattiramu ne bakola endagaano y’okutumbula Tanzania eri n’abatamanyi lulimi lwabwe era w’osomera bino oluyimba ‘Magufuli’ olwafuluma mu 2019, lwe lusinga okutunda ewaabwe ate nga lwe lwamunoonyeza n’akalulu akaamuzza mu ntebe mu 2020.   

Harmonize yali amaze ebbanga ng’akuba ennyimba eziraga ensobi mu Gavumenti ya Magufuli nga bw’olaba Ronald Mayinja bwe yasooka okuyimba ebiraga obutali bwenkanya obuli mu gavumenti ya wano.

Diamond ne Harmonize baakunga bavubuka bannaabwe okulonda Magufuli ate nga Tanzania erina abali wansi w’emyaka 25 ebitundu 75 ku 100.

Mu July wa 2020 ng’akalulu katabuse olwa munnabyabufuzi Tundu Lissu eyeesimba ku Magufuli okulabika ng’eyali atuuse okukawangula, Magufuli yayongera ekirungo n’ayita Diamond mu lukung'aana e Dodoma n’amusisinkanya muyimbi munne, Alikiba bwe baali tebakolagana enduulu n’etta abalabi ng’abalagidde beegwe mu kifuba.

Ataakitegedde labira ku Bobi Wine bwe yagwa mu kifuba kya Bebe Cool mu February wa 2019 ku Serena Hotel mu kivvulu kya Eddy Kenzo.

Ku lunaku lwe lumu Diamond ne Harmonize lwe baategeeza abantu nti enkolagana yaabwe ezzeewo kwe kugamba Magufuli n’awamba emitima gy’abavubuka wadde nga ye afudde alina emyaka 61.

Kyokka abayimbi abataawagira Magufuli mu kalulu olumu baatwalibwanga ng’abatawagira Gavumenti. Okugeza, omuyimbi Roma Mkatoliki eyakubanga ennyimba ezitawagira Magufuli, yategeeza mu April wa 2017 bwe yawambibwa abasajja bana abaamutulugunya okumala ennaku nnya ne bamusuula ku lubalama lw’eriyanja lya Buyindi ku njogoyego z’ekibuga Dar es Salaam.

Omulala eyeeyita Nay wa Mitego yakwatibwa mu budde bwe bumu lwa kuyimba luyimba olulimu ekibuuzo oba ddala Tanzania erimu eddembe ly’okweyogerera! 

 Yazzaako lwe yatuuma ‘Mungu Yuko Wapi’ ekitegeeza nti Katonda aliwa abakulembeze lwe baggyamu amakulu nti yali alaajana lwa kutulugunyizibwa bannansi kwe baali batuusibwako nga kukolebwa ku biragiro bya Magufuli.

Tags:
Diamond Platinum
Harmonize
John Pombe Magufuli
Tanzania
Roma Mkatoliki