Ab' e Kiboga balaajanye ku masannyalaze

Jul 24, 2021

ABANTU b'e Kiboga ku Lwamata Health Centre III balaajanidde Omubaka omukyala owa disitulikiti, Christine Kkaaya nti amasannyalaze gavaako eddagala eriri mu ffiriigi ne lyonooneka.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA   

ABANTU b'e Kiboga ku Lwamata Health Centre III balaajanidde Omubaka omukyala owa disitulikiti, Christine Kkaaya nti amasannyalaze gavaako eddagala eriri mu ffiriigi ne lyonooneka.

Bamutegeezezza nti amasannyalaze gasobola okuvaako okumala ennaku ssatu ate Solar gye balina ekozesa mataala gokka, ffiriigi etereka eddagala n'evaako.

Omubaka Kkaaya abadde alambula abantu n'okubadduukirira ng'abawa sabbuuni n'ebikozesebwa ebirala mu bulamu obwabulijjo.

Abasawo bongeddeko nti tebalina nnyumba za basawo webalina okusula okusobola okujjanjaba abantu emisana n'ekiro.

Ye omubaka Kkaaya yeemulugunyizza eri Minisitule y'ebyobulamu nti ekiseera we baateekerawo eddwaaliro lino abantu baali batono kyokka kati ekitundu kikuze efuuse Town Council eddwaaliro lisaana okugaziya ku mpeereza zaalyo.

Alabudde abeebyokwerinda abakwasisa ebiragiro by'okulwanyisa n'okutangira Corona nti afunye okwemulugunya okuva mu bantu abamu naddala abakyala ab'embuto nti babalemesa okutambula okutuuka ku ddwaaliro okunywa eddagala.

Abakulira eddwaaliro  bategeezezza omubaka nti ebyokwerinda biri mu mbeera mbi, sengenge gwe baali baasibawo abantu baamusala.

Bagamba nti olumu waliwo ababbi abaayingira ne bamenya ne babbamu kompyuta kwe baali baterese ebikwata ku balwadde ne babibuzaawo.

Omubaka abasuubizza nti ensonga waakuzitwala mu palamenti azanjuleyo era alondoole okulaba nga bekikwatako batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});