Batongozza enteekateeka z'okuddaabiriza eddwaaliro lya Gav't erya Kasangati Health Centre IV
Jun 15, 2022
Eddwaliro lya Kasangati Health Centre IV lyakuyoyootebwa lituukagane n'omutindo

NewVision Reporter
@NewVision
Libadde ssanyu ku ddwaliro lya Kasangati Health Centre IV nga abakulembeze ba Kasangati okubadde RDC w'e Kasangati; Frank Kyazze, Omuwami wa Kabaka akulira essaza Kyaddondo Kaggo Agness Nakibirige Ssempa, town clerk wa Kasangati tawuni kanso Umar Lutalo, akulira eddwaliro lino Dr Nyenje, Ying.wa Kasangati tawuni kanso Kenth Bagonza n'abalala bwe babadde batema evvuunike ku nteekateeka y'okuddaabiriza eddwaliro lino oluvunnyuma lw'akabanga akaweerako nga liyita mu kusomoozebwa okwenjawulo.
Ensimbi ezisoba mu bukadde 40 ze ziyisidwa town council y'e Kasangati nga zino zaakukola okuddaabiriza ebizimbe ebibiri okuli sweta abakyala bazaalira wamu n'abalwade we batuukira.
Tawuni Kiraaka Lutalo Ng'ayogerako Eri Bakulembeze Banne
Sweta Abakazi Mwe Bazaalirwa Nayo Egenda Kuddaabirizibwa
Abakulebeze Mu Kasangati
No Comment