Ebikwekweto bino birangiriddwa akulira National Children's Martin Kiiza bw'abadde ayogerako eri bannamawulire nga Uganda yetegekera okwegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw'omwana omuwala. Emikolo emikulu gyakubeerawo nga 11 omwezi ogujja.
Martin Kiiza bw'abadde annyonnyola agambye nti ebikujjuko by'okukuza olunaku lw'omwana omuwala byakutandika n'emisinde egituumiddwa Girl Power Marathon egy'okubeerawo nga ennaku z'omwezi bbiri n'ekigendererwa eky'okuvumirira ebikolwa eby'okufumbiza abaana abatannaba kwetuuka era nga wano alangiridde nti baakutalaaga eggwanga lyonna okufuuza aba LC abeekobaana n'abazadde okufumbiza abaana abato.
Annyonnyodde nti omukyuka wa ssentebe w'ekyalo obuvunaanyizibwa bwe obukulu kwe kukola ku nsonga z'abaana n'ategeeza nti singa kinaazulibwa nti omuwendo gw'abaana abafumbizibwa munene nnyo kyokka nga owa LC tafuddeyo kitegeeza abalemeddwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe aba asaana kuddako bbali.
Ye Julie Solberg akulira ekibiina kya Child Africa ekirwanirira eddembe ly'omwana omuwala mu bubaka bwe obumusomeddwa Ssanyu Robert awabudde abazadde abalina omuze gw'okufumbiza abaana okukikomya wabula babawe nabo omukisa okusoma n'ategeeza nti emisinde gyakuyamba nnyo okusitula eddoboozi ly'abaana abazze batulugunyizibwa.