Obubenje butuze abantu 170 mu wiiki bbiri mu ggwanga

POLIISI efulumizza alipoota mw'eragidde ng' abantu 170 be bafiiridde mu bubenje mu bbanga lya wiiki bbiri mu biseera ng' abantu bali mu keetalo ka Ssekukkulu.

Nampiima ng'ayogera eri abaamawulire.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Obubenje #butuze #170 #Wiiki

Bya Eria Luyimbazi 

POLIISI efulumizza alipoota mw'eragidde ng' abantu 170 be bafiiridde mu bubenje mu bbanga lya wiiki bbiri mu biseera ng' abantu bali mu keetalo ka Ssekukkulu.

Omwogezi w'ekitongole kya poliisi ekivunaanyizibwa ku bidduka, Farida Nampiima yagambye nti obubenje omwafiiridde abantu bw'avudde ku kuvugisa kimama, endiima n'obutawummula bw'abaddereeva n'obutawa bubonero bw'oku nguudo kitiibwa.

Yagambye nti mu bubenje obwaguddewo mwe mufiiridde n'omubaka we Serere mu Palamenti Patrick Okabe ne mukazi we Christine Okabe  ate omugoba w'emmotoka ye n'afuna ebisago ebyamaanyi n'addusibwa mu ddwaaliro nga biwalattaka.

Yategeezezza nti akabenje kano kaagudde mu kabuga ke Nabona mu Budaka ku luguudo lw'e Tirinyi  mmotoka, omubaka mwe yabadde atambulira ng'eva ku ludda lw'e Mbale okudda  Iganga  nnamba UBF 995F bwe yatomereganye ne loole nnamba KCX 071K.

Yagambye nti akabenje kano kavudde ku mugoba wa loole eyavudde ku luddwa kwe yabadde avugira n'alumba oludda mmotoka y'omubaka Okabe kwe yabadde ne zitomeregana wabula oluvannyuma lw'akabenje kano omugoba wa loole yadduse.

Yagasseeko nti era nga December 18, 2022 e Nabusanke ku luguudo lw'e Masaka  abantu  bana  be baafiiddewo mbulaga mmotoka mwe baabadde batambulira nnamba UBL 270S  bwe yatomereganye ne bbaasi eya kkampuni ya Global nnamba UAW 561P era ababadde batambulira mu  Filder ne bafiriawo.

Yagambye nti akabenje kano kaavudde ku kuba nti omugoba w'emmotoka ekika kya Filder yagezezaako okuyisa oluseregende lwa mmotoka wabula n'akuba akagulumu oluvanyuma n'ayingira bbaasi.

Yagambye nti mu wiiki okuva nga December 4, 2022, okutuuka December 10, 2022 obubenje 427 bwe bwaguddewo ne mufiiramu abantu 81 n'okulumya 276 ate okuva nga December 11 okutuuka December 17 obubenje 390 bwe bagwawo nga bwafiiriddemu abantu 83 n'okulumya 297.

Okulwanyisa obubenje 

Nampiima yagambye nti olw'okugezaako okutangira obubenje, poliisi y'ebidduka eyungudde abaserikale okukwata  abagoba b'ebidduka abamenya amateeka g'oku nguudo.

Yagambye nti abaserikale bateekeddwa mu bifo ebimanyiddwa nti wasusse okugwa obubenje , okukozesa ebyuma ebiketta abavuga endiima ( Speed gun), okusindika abakessi okutuula mu bidduka naddala bbaasi ne takisi okuzuula abavuga endiima wamu n'emmotoka za poliisi okulawuna enguudo ez'enjawulo.

Yategeezezza nti abanaakwatibwa nga bamenye amateega g'oku nguudo bakaukwatibwa baggalirwe oluvannyuma basimbibwe mu kkooti.

Yalabudde abagoba b'ebidduka bonna okutambula ne pamiti zaabwe ssaako naabo abatamanyidde kuvuga ngendo mpaavu okufuna baddereeva abalina obukugu kubatangire okugwa ku  bubenje.