Ky’olina okukola ng’owola ssente mu booluganda n’emikwano

Jun 07, 2023

BULI muntu ayagala abooluganda, era nga yandyagadde okulaba ng’abantu abo babeeramu bulamu obweyagaza. Ffenna Katonda yatutonda nga tulimu ekyagala okuyamba era tuwulira bulungi era tukyenyumirizaamu bwe tubaako gwe tuyamba ate bwe kituuka ku kuyamba owooluganda ne kiyitirira.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

BULI muntu ayagala abooluganda, era nga yandyagadde okulaba ng’abantu abo babeera
mu bulamu obweyagaza. Ffenna Katonda yatutonda nga tulimu ekyagala okuyamba era tuwulira bulungi era tukyenyumirizaamu bwe tubaako gwe tuyamba ate bwe kituuka ku kuyamba owooluganda ne kiyitirira.
Kyokka wadde guli gutyo bwe gutuuka ku kuwola ssente owooluganda oba ow’omukwano, wano embeera ekyukamu era bangi bapalappalanya era nga bwe kiba
kisoboka beewalira ddala okukikola.
Naye nga lwaki? Kubanga ab’ehanda, oba nno waakiri abeemikwano, tebatera kwagala kusasula era abantu bangi abazze babawola, babakaaba. Kyokka wadde guli gutyo abooluganda tebajja kulekera awo okujja gy’oli nga baagala okubadduukirira mu bizibu by’ensimbi bye baba batubiddemu era ng’ekkubo lye bajja okuyitamu lijja kuba lya kubawola.
Leero kye tuvudde tusalawo tukubaganye ebirowoozo ku kye tulina okukola singa twesanga mu mbeera y’owooluganda oba owoomukwano ayagala okumwola.
Abakugu batuwadde ebintu bino wammanga bye tulina okwetegereza nga tuwola owooluganda oba, owoomukwano.
l Towola z’otasobola: Omulala agamba nti towola zinaakuluma. Naye ng’ekituufu kiri nti towola ssente kwosibidde lukoba.
Wandibadde owola ssente z’owulira nti ne bwe zitadda tezigenda kukusuula! Kino kye
kituufu kubanga nga ffenna bwe tumanyi abantu bangi tebalina nkola ya kusasula, kati omuntu gw’oteekakasa nti anaazizza lwaki omuwa obusente bwo bw’ofunidde
mu bulumi. Teekayo ezitaakulume.
l Lowooza ku bizibu ebiyinza okuva mu kuwola kuno: Omuntu bw’aba nga ddala mukwano gwo oba nga waaluganda lwo, kikulu nnyo okulowooza ku nkolagana yammwe nga tonnaba kumuwola ssente. Singa okizuula nti ssente zino ziyinza okubatabula, kiryose n’otamuwola.

Kituufu ayinza okunyiiga nti ogaanyi okumuwola,kyokka okunyiiga okwo tekujja kutuuka ku kutabuka kwe muyinza okufuna singa agaana okuzza ssente ze wamuwola, naddala bwe ziba nga zigwa mu kiti kiri ekya

 ssente eziruma. Bwe kiba kisoboka, waakiri omuntu oyo muwe ekitun du ku ssente z’abadde ayagala, okusinga okumuwola ezinaaleeta obuzibu mu nkolagana yammwe.
l Buuza ensonga entuufu ey’okwewola: Kituufu olumu tuba n’ensonyi, naye omuntu
 bw’aba akimye ssente ewuwo, kala amaaso omubuuze ky’ayagala okukozesa ssente ezo era bw’omala okuwulira kijja kukuyamba okuzuula oba nga ddala omuntu ono anaasobola okuzza ssente oba ssente atwala za kulya buli. Bwe ziba zaakulya, okuggyako nga tekyewalika, tewandimuwoze ssente, waakiri muwe. l Buuza ku bantu abamumanyi:
Bw’oba ng’omuntu ono tomuwolanga ku ssente, kikulu nnyo okuzuula ensasula ye. Erimu ku kkubo mw’oyinza okuyita okuzuula enkola ye mu bya ssente kwe kwebuuza ku bantu abamumanyi oba abaali bakolaganyeeko naye mu by’ensimbi. Wano
nno empisa zo ezedda w’oyinza okuzifuniramu oba okukuggyamu.

Bano bwe banaaba beesimbu bajja kukubuulira era bye banaakubuulira kw’oyinza okusinziira okumuwola ssente n’obungi bwa ssente z’osaana okumuwa.


l Mukole ppulaaniy’ensasula: Tuula n’omuntu azze okwewola akubuulire bw’ayagala
okusasula ebbanja lino. Mu kaseera kano ojja kusobola okumanya oba nga ddala omuntu ono mwetegefu okusasula era alina obusobozi obusasula.


l Teekamu amagoba: Okwongera okulaga gw’owola nti ebintu si byakusaaga, bwe kiba
kisoboka mutegeeze nti alina okuteekamu amagoba akimaye nti ssente z’omuwadde si za kulya wabula zirina okuzaala ssente.


Mu ngeri y’emu naawe kijja kukuyamba ssente ezo zigende okudda nga zikyasobola okukola bye zaali bisobola okukola we wazimuweera.


l Kola endagaano: Kikulu nnyo okussaawo obuwandiike bwe kiba kizoboka, kubanga ng’oggyeeko okuba ng’endagaano eteekawo obujulizi nti wamuwoze era n’erambulula
ebisuubirwa ku buli luuyi, endagaano eno era eba ya mugaso nnyo singa awoleddwa afuna obuzibu n’aba nga takyayinza kwogera oba ng’afudde. Kyokka n’ekirala ekikulu bwe kiba kisboka wabeewo abajulizi.

Bino byenkugambye ebisinga bbanka by’ekola, ate n’ekuggyako ssente mpitirivu, kyokka nnaawe njagala obikole kubanga kye tunoonya kwe kulaba nga enjuyi zombi zifunamu.

Abantu bangi omuli mikwano gyange Abayindi bagagawadde nga ssente baziggye mu kwewola mu mikwano, naye wano ewaffe ekisinze okutulemesa bwe bwesimbu era singa tukikolako nga tukola ebimu ku bye tulabye waggulu, ffenna tujja kuyambagana era tubeere bulungi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});