Abakulembeze ba ttakisi mu Kampala bavuddeyo ku mbeera ya ddereeva munnaabwe Moses Kawooya era omuwagizi wa NRM eyali amanyiddwa ennyo mu kutyabula amazina ku mikolo gya pulezidenti eminene basabye pulezidenti ateekewo akakiiko akalondoola ebintu by’agaba.
Bano nga bakulembeddwamu ssentebe w’ekibiina ekigatta baddeereva ba ttakisi mu ggwanga ekya UTOFA Rashid Ssekindi n’omuwanika w’ekibiina kino era eyali omuwanika wa UTODA Kawooya mwe yatandikira omulimu gwa ttakisi William Katumba beeyamye okukwatagana n’abasiteegi ye ey’e Nsambya okulaba nga bayamba Kawooya.
Kawooya Ku Muzigo Mw’asula.
Ku nsonga y’ekisuubizo kya pulezidenti eri Kawooya eky’e mmotoka Ssekinde ayagala pulezidenti ateekewo akakiiko akeetengeredde akavunaanyizibwa mu kulondoola okulaba nti ebisuubizo bye biteekebwa mu nkola nga bw’azze ateekawo obukiiko obulala.
Yagambye nti kino ssinga tekikolebwa kijja kuvaako abantu okumukyawa n’okukyawa ekibiina kubanga bangi abalinga Kawoowa abatafuna mukisa kutuusa ddooboozi lyabwe eri abakwatibwako.
Ssekindi yategeezezza nti mu mulimu gwabwe balina ensawo ya’’ Welfare’’ ku buli siteegi evunaanyizibwa okukola ku bizibu bya baddereeva abali mu mbeera nga Kawooya gy’ayitamu era nga balina n’amateeka agalambika abantu abalina okuyambibwa ku ssente zino.
Yagambye nti ensawo eno eyamba ddereeva abeera alwadde,afudde,afiiriddwa abazadde okuli taata ne maama oba omwana.
William Katumba Omuwanika Wa Utofa.
Ye Katumba yagambye nti yadde Kawooya batandika naye mu UTODA era omutandisisi wa siteegi ye Nsambya kyokka eby’obulwadde abadde tabimanyi era yasuubiza nga bwe bagenda okukola kyonna ekisoboka okulaba ng’ayambibwa nga mmeemba wa UTOFA.
Era obutafaananako nako ku siteegi endala yali aweebwa ekitiibwa eky’enjawulo era nga bw’atuuka ku siteegi tasimba layini ng’abalala era ye mukulembeze yekka atavanga ku bwassentebe okuva siteegi lwe yatandikawo.
Robert Twebaza omuwandisi ku siteegi y’e Nsambya yategeezezza nti yasinkana Kawooya mu 1989,era okuva olwo okutuusa leero ye ssentebe waabwe era ng’omulimu agukoze bulungi okutuusa mu lwe yatandika okunafuwa mu muggalo gwa Covid-19.
Yagambye nti okuva mu muggalo Kawooya taddangamu kuvuga mmotoka yadde ng’ayasigala emirimu gy’obwassentebe agikola era nga buli Mmande n’Olwokutaano ajja n’asiba nabo.
Yagambye nti bazze bamukwatizaako mu mbeera y’obulwadde wabula olw’okubanga siteegi yaabwe eriko baddereeva batono tebasobola kukola ku byetaago bye byonna kubanga ensawo ya ‘’Welfare’’ erina okuyamba n’abalala.
Emmotoka ya kawooya yali tesimba layini
Twebaze yagambye nti kuva dda nga Kawooya aweebwa ekitiibwa era yadde bazze bategeka okulonda okw’enjawulo ye abadde tavuganyizibwa ku kifo ky’obwassentebe nga ne mmotoka ye tesimba layini ng’endala.
Kawooya yategeezezza nga pulezidenti bwe yamusuubiza emmotoka ekika kya kosita mu 2013 wabula n’okutuuka leero eno tagifuna nga ekintu ekimuluma ennyo ate ng’emmotoka ze zonna zaayonoonekera ku mikolo gya ggwanga gye yagenda nga ne bandi ye eya SAMADS okusanyusa abantu n’abagenyi b’Eggwanga