Embwa ezitayaaya e Luzira zisattiza abatuuze

Apr 05, 2025

ABATUUZE be Panda PL e Luzira balaajana olw’embwa ezisusse okutayaaya ku kitundu nga zibamaliddewo ebisolo n’ebinyonyi nga balina obweraliikirivu nti zijja kutandika okuluma abantu.

NewVision Reporter
@NewVision

ABATUUZE be Panda PL e Luzira balaajana olw’embwa ezisusse okutayaaya ku kitundu nga zibamaliddewo ebisolo n’ebinyonyi nga balina obweraliikirivu nti zijja kutandika okuluma abantu.

Nga bakulembeddwamu Ssentebe w’ekitundu kino, Joseph Tomusange balaze obwennyamivu olw’omuwendo gw’embwa ogususse mu kitundu kyabwe nga zibeera zitayaaya wakati mu bantu kyokka nga n’ezisinga zi ngeme ky’gamba nti kya bulabe nnyo er obulamu bw’abantu.

Ategezezza nti enfunda eziwera bawandiikidde ekitongole kya KCCA ku kizibu ky’embwa zino mu kitundu kyabwe kyokka nga tebannafuna bulungi kwanukulwa.

Ekisinga okuleeta obuzibu bebantu abalunda embwa zino obutazikuuma bulungi nga ziva mu maka gaabwe olwo nezitandika okutayaaya ku kyalo.

Tomusange ategezezza nga bw’agezezaako okutuukirira abantu bebalowooza okuba banannyini mbwa zino kyokka nga bazegaana ekireka ekitundu kyabwe mu kusoberwa ku ki eky’okuzaako.

Tomusange awanjagidde ekitongole kya KCCA okuvaayo babeeko kyebakola ku mbwa zino ezisusse kubanga zitadde obulamu bw’abatuuze ku bunkenke.

Zainabu Namubiru omutuuze mu kitundu kino tegeezezza nga bweyali omulunzi w’enkoko n’embaata kyokka nga embwa zaazirya nezizimalawo nga n’olumu waliwo omutuuze gweyawaabira n’amuliyirira nga embwa ze ziridde enkoko ze.

Mmeeya we Nakawa Paul Mugambe ategezezza nti kituufu bakyalina okusomoozebwa kw’embwa ezitayaaya mu bitundu bya Nakawa eby’enjawulo nga bakyasala magezi ku ngeri gyebanogera ekizibu kino eddagala.

Ategezezza nga bwebafuba okutegeka ensiisira eziwerako mu bitundu bye Nakawa n’ekigendererwa ky’okulaawa n’okugema embwa zino okukendeeza ku bulabe bweziyinza okuba nabwo eri abantu.

Mugambe ategezezza nga bwekimenya amateeka okuta ebisolo nebimala gatayaaya era singa omuntu yenna anaakwatibwa nga akikola ajja kuvunaanibwa mu mateeka.

Omwogezi wa KCCA Daniel Nuwabine alunngamizza nga bwekimenya amateeka okumala gatta ebisolo kyokka n’ategeeza nga bwebagenda okukola kawefube okutuuka mu bifo ebyo byonna ebitawanyizibwa embwa zino zigemebwe n’okuziraawa okulaba nga bakendeeza ku ngeri gyezizaalamu.

Kyokka akubirizza abantu abalina embwa okuziriisa obulungi wamu okuzikugira okugenda mu bantu nga bazikuumira mu maka gaabwe kubanga buli lwebazita nezitayaaya kyekiviirako okutigomya abantu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});