TOP

'Endwadde z'amagumba mu baana ziva ku bujama'

Added 29th March 2012

ENDWADDWE nnyingi ezatwalibwanga okuba ez’abakulu kati ziruma abaana kyokka ng’abazadde bangi tebakizuulirawo ekibatuua okusalwako ebitundu b yabwe ebyomubiri ebimu.

Bya Ruth Nazziwa

ENDWADDWE nnyingi ezatwalibwanga okuba ez’abakulu kati ziruma abaana kyokka ng’abazadde bangi tebakizuulirawo ekibatuua okusalwako ebitundu b yabwe ebyomubiri ebimu.

Justine omu ku baana abatawaanyizibwa endwadde z’amagumba era nga gaali gavunda annyonnyola obuzibu  bwe bwajja.
Obuzibu bwantandika ku myaka 10 bwe nafuna ekizimba ku kugulu okwa kkono. Natwalibwa ew’omusawo ku kyalo n’anzijanjaba ne mpona.

Ku myaka 15, ekizimba kyanziramu ku kugulu okwa ddyo ne banziza ew’omujjanjabi eyasooka nga butereere.

Bwe tweyongerayo mu ddwaaliro eddala baatuwa amagezi tugende e Mulago. Olw’obutaba na nsimbi banziza eka okumala emyezi mukaaga naye ng’okugulu kweyongera kuvunda.

Oluvannyuma maama yafuna amutegeeza ku ddwaaliro gye bajjanjabira amagumba e Nkokonjeru gye yantwala nga nvaamu amasira mangi buli lunaku.

Nnakoga ne nsigaza magumba olw’obutalya nga kiva ku bulumi. Abasawo ku CoRSU bannekebejja ne bakizuula ng’obuwuka bwansensera mu magumba ne bannongoosa emirundi egyawera okutuusa lwe natereera.

Bandagirira engeri gye nnina okulya ne nziramu okufuna omubiri. Bantandisa ku bujjanjabi bwa dduyiro okugulu kusobole okulinnya kuba namala emyaka etaano nga sikusimba olw’obulumi.

Kati nsuubira okuddamu okusoma era njagala kuba musawo nange nzijanjabe abantu abalina obuzibu ng’obwange”, bw’amaliriza.

Omusawo ky’agamba
Omukugu mu kujjanjaba endwadde z’amagumba okuva mu Corsu Children’s Rehabilitation Hospital and Corsu CBR , Dr. Dian Mutule agamba nti obuwuka buno buvunza amagumba ne goonooneka ekiyinza okukulemaza.

Agamba nti, obulwadde buno busaasaanyizibwa obuwuka obuva ku bujama nga buyita mu musaayi ne busensera amagumba.

Ekibuleeta
1. Okukozesa amazzi amajama. 
2. Obwerinzi bw’omubiri okunafuwa nga kiva ku kulya obubi.
3. Omusaayi ogutatambula bulungi.
4. Amabwa agatawona.

Dr. Mutule akubiriza abantu okugenda mu ddwaaliro nga baakawulira obulumi mu magumba kuba bwe buba bwe bulwadde bwe balina bajjanjabwa mangu nga tebunnakola kabi kanene.

Wabula bwe liba liriiriddwa, omuntu alongoosebwa n’okuweebwa eddagala eritta obuwuka buno okusobola okutaasa erisigadde.
Corsu Children’s Rehabilitation Hospital e Kisubi bajjanjaba endwadde nga nnakimu, ekifuula (ebigere ebyewese0 ebitege mu baana ku bwereere  ate kati bagguddewo waadi ez’okwesasulira eri  abasobola nga zino zaakuyamba mu kulongoosa abaana abaliko obulemu mu ddwaaliro lino.

Irene Nabalamba, omwogezi w’edwaaliro lino agamba nti abantu 16 ku buli 100 ku muwendo gw’abantu bonna mu ggwanga abaliko obulemu baana abali wansi w’emyaka 15. 

‘Endwadde z’amagumba mu baana ziva ku bujama’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...