TOP

'Omuwendo gw'abaana abatanneetuuka abazaala gulinnye'

Added 24th October 2013

“MU Uganda, abakazi abali wakati wa 297,000 ne 300,000 be baggyamu embuto buli mwaka kyokka ng’abasinga ku bo baana abali wansi w’emyaka 18.



Bya RUTH NAZZIWA

“MU Uganda, abakazi abali wakati wa 297,000 ne 300,000 be baggyamu embuto buli mwaka kyokka ng’abasinga ku bo baana abali wansi w’emyaka 18.

Omuwendo gw’abakyala abafa ku ngeri ezeekuusa ku kuzaala bali 438 ku buli baana 100,0000
abazaalibwa nga balamu”,

Sarah Opendi minisita omubeezi ow’ebyobulamu bw’agamba.

Abaana balina okuyambibwa okusobola okuweza emyaka 18 nga tebanneetaba mu bya kwegatta okwewala embuto eziteetaagibwa.

Omuzaalisa avunaanyizibwa ku woodi y’abakyala abazaala e Mulago, Naomi Alobo agamba nti omuwendo gw’abaana abafuna embuto nga tebanneetuuka guli wagulu era nga mu mwezi, abaana 94 abali wakati w’emyaka 14 ne 17 be bazaala ng’abasinga bazaalira ku kiso kuba emibiri gyabwe giba teginnakakata kusobola kusindika mwana.

Omwana azadde muliise bulungi

ENDABIRIRA ya nnakawere Musawo Twinomuhangi annyonnyola nti, abaana bano oluusi bafuna okunyigirizibwa mu mutima ne mu bwongo nga beetaaga okubudaabudibwa n’okubafaako mu ngeri eyenjawulo kibasobozese okwagala
abaana be bazadde.

Buli lwe yeekyawa muli n’omwana we amukyawa oba obutamulabirira bulungi.

Kakasa nti amira bulungi eddagala abasawo lye bamuwadde kuba kimuyamba okuwona amangu.

Okukuuma obuyonjo nakyo kikulu kuba kiziyiza obuwuka okuyingira mu biwundu by’aba afunye mu kuzaala ekiwagira omubiri okwejjanjaba obulungi.

Endiisa Muwe ebijjulo ebijjuvu omuli ebika by’emmere yonna eyeetaagibwa omubiri gwe asobole okuyonsa omwana naye afune ebiriisa byonna akule bulungi nga talwalalwala.

Ebibala, enva endiirwa naddala ezikaawa, obuugi n’ebyokunywa byonna abyetaaga.

Bino biyamba okuleeta apetayiti, okuddaabiriza ebitundu ebiba binafuye mu mubiri n’okulung’amya entambula y’omusaayi n’okuzzaamu nnakawere amaanyi ekimusobozesa okuwona amangu.

Omukugu mu kubudaabuda abaana okuva e Naguru Teenage Centre Martin Byamugisha agamba nti, mu Uganda, abaana abatanneetuuka 120 abali wakati w’emyaka 15 ne 19 be bakolebwako mu ddwaaliro ly’abavubuka lino nga bali mbuto.

Annyonnyola nti, abaana bano babasomesa engeri gye bayinza okwerabirira n’okubalyowa emyoyo ekibasobozesa okusumulukuka obulungi.

Abaana bano bayita mu kunyigirizibwa kunene nga bali mbuto naddala abasajja okwegaana abaana, okugobwa abazadde ekitulugunya obwongo bwabwe.

Embeera eno ebasindiikiriza okuggyamu embuto ate ne batafuna bujjanjabi bwetaagisa ekiyinza okubaviirako okufuna obuzibu obulala.

Wabula okusobola okukendeeza ku muwendo gw’abaana abafuna embuto nga tebanneetuuka, balina okwewala okwetaba mu bikolwa by’okwegata nga tabanneetuuka.

Okwewala okukyalira abalenzi n’abasajja nga bali bokka ne bw’aba wa luganda.

Okwetaba mu bibiina ebikulaakulanya ebitone n’ebiri ku musingi gw’eddiini okusobola okwetangira ebikemo.

‘Omuwendo gw’abaana abatanneetuuka abazaala gulinnye’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...