TOP

By'olina okugoberera omusana obutakukosa

Added 15th January 2015

SIZONI y’omusana etandise era abantu bangi baatandise okukaaba ssennyiga n’ekifuba nga n’abamu amaloboozi gafudde tebakyayogera.

Bya HERBERT MUSOKE  NE OLIVE LWANGA


SIZONI y’omusana etandise era abantu bangi baatandise okukaaba ssennyiga n’ekifuba nga n’abamu amaloboozi gafudde tebakyayogera. Omusana ogulimu kikunta gusitula enfuufu n’eggweera mu bantu n’ebifo gye bakolera oba okusula ekitambuza endwadde.

Dr. Farouk Muyingo owa Mpigi Hospital agamba nti, akasana kalungi singa kabeera katono naddala ako ak’oku makya. Wabula akaaka ennaku zino si kalungi olw’okuba kangi ekisusse ate kalimu kikunta atambuza enfuufu n’endwadde.

Ayongerako nti, ng’oggyeko enfuufu, empewo essibwa gye tuyingiza mu mawuggwe nkalu nnyo ekigaleetera n’emimiro, ssaako olususu okukala era olaba abantu bangi emimwa gibakaze nga kiva ku mazzi okukendeera mu mubiri.

OBULABE BW’OMUSANA

1 Okubeera mu musana omungi ennyo kiyinza okuvaako endwadde nga kookolo w’olususu.

2 Omusana gukakanyaza n’okuleeta enkanyanya ku lususu n’olabika ng’omukadde.

3 Gukaza olususu omuntu n’asiiwuuka n’okuvaako evvu.

4 Omusana gukaza omubiri naddala nga tonywa mazzi gamala kuba abeera atuuyana.

5 Olumu kivaako okufuna ebikuyiro naddala singa obeera ogubaddemu okumala ebbanga eddene.

6 Ssennyiga n’ekifuba bibeera bingi kuba empewo n’enfuufu ebitambuzibwa biba bijjudde obuwuka obubireeta ate n’okubusaasaanya.

7 Olumu kivaako obulago okukala n’emimwa okusiiwuuka n’okwatika oba okufuna amabwa.

8 Kivaako obulwadde bw’amaaso kuba enfuufu buli lw’egayingira ejjiramu obuwuka obusirikitu obusobola okulwaza amaaso, okugamyuusa, okuleeta amaziga wamu n’okusiiwa.

KOOKOLO W’OLUSUSU

Dr. James Kafeero, owa Cancer Institute e Mulago agamba nti omusana gulimu Vitamin D ayamba okukuuma olususu nga lulamu era lulabika bulungi n’okuluziyiza okukwatibwa kookolo.

Mu ngeri y’emu olususu lubeera luyulika munda ate nga lulwawo okuwona. N’olwekyo wadde obulabe bw’omusana buyinza obutabeera bwa maanyi nga tuli bato, bwe tukula bweraga nnyo.

Omusana guvaako olususu okufuna amabala, ng’ebitundu byalwo ebimu tebifaanana na birala. Oluusi lufuuka olwa kyenvu naddala mu bantu abeeru, lunaanuuka n’okwereega kw’obusuwa obutono obubeera wansi waalwo ekivaako okuyulika, okunaanuuka kw’olususu, okwefunya kw’ennyama n’ebirala.

Ebibala n'omubisi biyamba ku musana

ENGERI Y’OKWERABIRIRA  KU MUSANA

Dr. Muyingo agamba nti, okwekuumira mu mbeera ennungi, olina okukola bino:

1 Okunywa ennyo amazzi okuzaawo amazzi g’ofiirwa mu musana. Olw’okuba omusana mungi n’ebbugumu libeera lingi mu mubiri ekiguleeta okukozesa mu bwangu amazzi agagulimu n’olumwa ennyonta.

2 Bw’oba tosobola kunywa mazzi kozesa omubisi gw’ebibala oba okubirya naddala ebirina amazzi amangi nga wootameroni, ennaanansi, emicungwa n’ebirala.

3 Ggwe akola duyiro olina okunywa ennyo omubisi era wandibadde onywa wakati w’eggiraasi 2 - 4 buli ssaawa omubiri ne gufuna amazzi wamu ne ssukaali owoobutonde eyeetaagibwa.

4 Ennyambala nayo gitunulemu, kuba okwekapika ekisusse ku musana nakyo kikosa omubiri kuba n’engoye ezimu zookya olususu.

5 Bw’oba okola emirimu egy’amaanyi, fuba okulaba ng’onywa amazzi n’obutakozesa nnyo bitamiiza kuba bingi binyunyunta amazzi mu mubiri.

6 Bw’oba otambula mu musana kirungi n’oyambala enkoofiira engazi ekubikka olususu luleme kukala na kwesalasala n’okutangira amaaso okukosebwa ennyo ekitangaala.

BY’OLINA OKWEWALA

Tonywa bintu birimu mwenge wadde ssukaali omungi kuba ate ebyo byongera kukukamula mazzi mu mubiri.
Mu ngeri y’emu weewale okunywa ebinnyogoga ennyo kuba biyinza okukulumya olubuto. 

By’olina okugoberera omusana obutakukosa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...