TOP

Obulabe obuli mu kwambala engatto ezitakutuuka

Added 19th February 2015

OBADDE okimanyi nti kooni (olususu okuguba ne lukaluba oluusi n’okuzimba ku nnyingo oluusi mu bibatu by’engalo n’entobo z’ebigere) kizibu ky’olina okutwala mu ddwaaliro kyokka ng’osobola okukiziyiza ng’okyusa engatto z’oyambala.

Bya RASHIDAH NASSALI 

OBADDE okimanyi nti kooni (olususu okuguba ne lukaluba oluusi n’okuzimba ku nnyingo oluusi mu bibatu by’engalo n’entobo z’ebigere) kizibu ky’olina okutwala mu ddwaaliro kyokka ng’osobola okukiziyiza ng’okyusa engatto z’oyambala.

Dr. Yusuf Gitta omukugu mu ndwadde z’olususu mu ddwaaliro e Mulago agamba nti, kooni bulwadde obuva mu kunyigirizibwa kw’olususu n’ekivaamu kubulwa we lussizza ne kireeta ekitundu ekyo okutuyira ne kizimba. 

Kooni zitera kukwata ebintundu omuli engalo n’ebigere nga biva mu kunyigirizibwa.    Wabula kooni ezikwata mu ngalo abamu bazibuzaabuza n’amabavu ekivaako n’okuzigayaalirira.   

Mu mbeera eya bulijjo  kooni teyeetaaga kujjajjaba kuba esobola okuwona singa okunyigirizibwa kuvaawo. 

1 Ekimu ku bisinga okuvaako kooni naddala ku bigere z’engatto ezibikka singa omuntu aziiberamu okumala ebbanga eggwanvu buli lunaku.

Kuno kw’ossa n’abo abambala ezibanyiga.

Okwambala engatto ennene ku kigere nakyo kireeta kooni kuba ekigere  kiba tekituuka mu ngatto olwo ne kitandika okugyekuutako n’ekivaamu kutta lususu oba okulugubya.

2 Ekirala abantu abatawaanyizibwa obulwadde bwa ssukaali olw’omusaayi obutatambula bulungi nabo bafuna obuzibu buno.                      

Abantu abagenda okulima nga tebambadde giraavu n’abavuga eggaali oba pikipiki olususu lwabwe lunyigirizibwa okukkakkana nga bafunye kooni. 

KOONI OGITEGEERA OTYA?

Bw’olaba akazimba ku kigere  kyo oba mu ngalo zo nga katangaala wabula nga bw’okakwatako kakaluba kyokka nga kalabika ng’akalimu amazzi omanya nti eyo kooni.

Singa okakwatako n’owulira nga kakuluma, kyokka nga bw’otokakwatako tekaluma.

KKOONI AJJAJJABWA ATYA?

Kooni osobala okuzijjanjaba mu ngeri ezze njawulo omuli; Okulongoosebwa naye nga kikolebwa omusawo omukuggu yekka.

Kkooni asobola oku mwebwawo wabula nakyo kyiyina okukolebwa omusawo omukuggu yekka. Era Kkooni asobola okuwonyezebwa singa okozzesa ekiyinja ekikutta ebigere nga okutta mpola mpola okutuusa akazimba lwe kagwawo.                         

ENGERI Y’OKUZIYIZA KOONI

1 Olina okwambala engatto ezzikutuuka obulungi.

2 Yambala sitokisi oziyize ebigere byo okwekuuta ku ngatto. 

3 Nnyika engalo zo n’ebigere mu mazzi agannyogoga ebigere byo biweweere n’okubikuuta biveeko olususu olugubye. 

4 Abalima n’abavuga eggaali  beetaaga okwambala giraavu buli lwe bagenda okukola emirimu gyabwe basobole okuziyiza engalo okwekuuta ku nkumbi oba ebirala by’okozesa ebireeta kooni.

Obulabe obuli mu kwambala engatto ezitakutuuka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...