TOP

Okufuna mu dduyiro w'okutambula olina kwanguwa

Added 2nd June 2016

OKUTAMBULA dduyiro mulungi. Weekubirize waakiri buli lunaku otambuleyo eddakiika 30

 Abantu abagolola ebinywa.

Abantu abagolola ebinywa.

OKUTAMBULA dduyiro mulungi. Weekubirize waakiri buli lunaku otambuleyo eddakiika 30. Kikuyamba amawuggwe n’omutima okukola obulungi, okugumya amagumba, okwokya amasavu agasusse mu mubiri n’okuwa ebinywa n’omubiri amaanyi ge byetaaga.

Mu ngeri y’emu okutambula kusobola okukuyamba okulwanyisa endwadde z’omutima, ssukaali n’obulwadde obulala.

Dr. Annet Nankwanga omukugu mu by’okujjanjabisa dduyiro ate ng’asomesa mu Makerere yunivasite, agamba nti obutafaanagana n’ebika bya dduyiro ebirala, okutambula kwangu.

“Abantu beegayaaza okukola dduyiro abalala ne beefuula abatalina biseera. Akadde akatono ke bafuna ng’okugenda ku kyemisana ebiri okumpi bavugawo mmotoka.

Dr. Nankwanga agamba nti kino kikyamu kubanga obeera weefi iriza bye wandifunye mu kutambula.

Omuntu nga tabeera wala nnyo yandibadde atambula ng’adda n’awaka. Wadde okutambula kulabika nga okwangu ssinga oba teweetegese n’otambula ekisusse osobola okulwala oluusi n’okufa.

Tambula okusinziira ku ngeri gye weewulira. Ssinga omubiri munafu towaliriza sooka kufuna bujjanjabi bw’omala otambule.

Bw’obeera fi iti osobola okutambula ekiwera ate bw’obeera toli fi iti tambula kitono ogende ng’oyongerako mpola oluvannyuma ng’oteredde.

Olina okulya emmere ekuwa amaanyi ng’akawunga, muwogo, lumonde, ebinjanjaalo, omucceere, ebyennyanja, ebibala, n’endala ate ng’onywa n’amazzi agawera.

Ssinga bikuggwa mu mu mubiri obeera mu buzibu. Okusobola okumalako tandika mpola ng’olinga abugumya omubiri oluvannyuma lw’eddakiika nga 10 yongoza ku sipiidi.

Ssinga otambula mpola okumalako tolina ky’ofunamu wabula okwanguwa kikuyamba okwokya n’okufulumya obutwa.

Twala obudde okuwummuza omubiri ng’omalirizza era golola ebinywa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...