
Omukazi ng'anywa amazzi
ABANTU bangi bafuna endwadde nga zeekuusa mu kukozesa n'okunywa amazzi agatali mayonjo.
Endwadde omuli ekiddukano, kkolera, endwadde z’ensusu, omusujja gw’omu byenda n’endala zonna ziva ku mazzi majama olw’obuwuka obugabeeramu.
Abantu bakubirizibwa okukuuma obuyonjo bw’amazzi nga bagafumba oba okugateekamu eddagala eritta obuwuka buno basobole okubeera abalamu.
Waliwo n’akuuma akakoleddwa okuyamba mu kusengejja amazzi ne gavaamu obucaafu, okuggyamu olusu n'okugalongoosa okutuuka ku ssa ly’okunywebwa nga tegalina bulabe bwonna eri agakozesezza nga Mw. Yusuf Ssekiziyivu owa bw’annyonnyola