TOP

Ebyobulamu mu kitundu kya Kasubi Zooni III byeraliikiriza

Added 17th October 2016

EBYOBULAMU bimu kubisinga okuteekebwa ku mwanjo wadde ng’abantu mu bitundu bingi beesuuliddeyo gwa naggamba ekivuddeko okulwala endwadde ezisobola okutangirwa nga ziva ku bujama.

 Omuvubuka ng'ayoleza engoye ku luzzi lwe bakimako amazzi. EBIFAANANYI BYA BENADINO KATE

Omuvubuka ng'ayoleza engoye ku luzzi lwe bakimako amazzi. EBIFAANANYI BYA BENADINO KATE

Bya BENADINO KATE

EBYOBULAMU bimu kubisinga okuteekebwa ku mwanjo wadde ng’abantu mu bitundu bingi beesuuliddeyo gwa naggamba ekivuddeko okulwala endwadde ezisobola okutangirwa nga ziva ku bujama.

Abamu ku bali mu mbeera eyeeraliikiriza be batuuze b’e Kasubi Zooni 3.

Emyala egisangibwa mu kitundu kya Kasaubi zooni 3 nga bwe gifaanana.

Hajji Twaha Mpanga n’abatuuze abalala mu kitundu bagamba nti, bamaze ebbanga nga bakaaba olw’ekizibu ky’obujama.

Abatuuze bangi tebalina kaabuyonjo era  kazambi  bamumansa mu myala ate nga ne kaabuyonjo ebbiri KCCA  ze yatuzimbira emu yajjula ng’abantu tebakyasobola kugikozesa.

Zooni eno erimu abatuuze abasoba mu 2000 wabula beeraliikirivu olw’endwadde enkambwe eziyinza okubalukawo obudde bwonna olwa kazambi n’amazzi amacaafu ge bakozesa.

Omukyala ng'ayanika engoye mu maaso gwe mwala oguliraanye ennyumba.

Edward Bbosa, atwala ebyobulamu mu kitundu kino agamba nti ssinga aboobuyinza tebavaayo mangu kuyamba, abantu batuuse okufuna endwadde n’okufiirwa obulamu.

Annyonnyola nti, abatwala ebyobulamu bagezezzaako okusomesa abantu ku bulabe obuli mu kumansa kazambi ne kasasiro buli we basanze naye tebawulira.

Basaba Gavumenti ebayambe okubalongooseza kaabuyonjo ze balina n’okwongera ku bungi bwazo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...