TOP

Ebintu 10 by'olina okulya okusaabulula obutwa mu mubiri

Added 20th October 2016

Ebintu 10 by’olina okulya okusaabulula obutwa mu mubiri

 Omukyala ng’alya ebibala ebiyamba okusaabulula obutwa mu mubiri.

Omukyala ng’alya ebibala ebiyamba okusaabulula obutwa mu mubiri.

Ennaku zino tulya ebintu bingi ebirimu obutwa. Ssinga buyitirira mu mubiri ensigo ziyinza okufuna obuzibu kuba omulimu guyitirira obunene mu kukenenula obutwa mu mubiri.

Waliwo ebyokulya by’oyinza okulya ne bikuyamba okusaabulula obutwa mu mubiri nga

1. Ovakkedo; Ono alimu ekirungo ekiyamba okwoza mu mubiri n’ebiwuziwuzi ebiyamba okusalaasala emmere.

2. Beetroot naye ayamba. Oyinza okumulya oba okumukolamu omubisi n’onywa. Ono ayamba n’okukuzzaamu omusaayi ssinga guba gukendedde mu mubiri.

3. Oyinza okulya broccoli alimu ekirungo ekiyamba ensigo okukenenula obutwa mu mubiri.

4. Okulya emboga naddala nga mbisi kiyamba ensigo okukenenula obutwa mu mubiri ate n’okukuyamba okufuluma n’ofulumya obutwa bw’olidde.

5. Katunguluccumu ayamba omubiri obutatawaanyizibwa ndwadde n’ensigo ne ziba nnamu bulungi.

6. Okulya entangawuuzi nakyo kikuyamba. Oyinza okuzigaaya oba okuzinywera mu mazzi agabuguma ne gakuggyamu omukka mu lubuto.

7. Weemanyiize okunywa amajaani ga kiragala. Gano gatundibwa mu maduuka amanene. Gano ogassa mu mazzi agookya n’onywa.

8. Okunywa amazzi mw’okamulidde enniimu nago gakuyamba. Eyamba n’okukendeeza amasavu mu mubiri. Wabula kikukolera singa toteekamu ssukaali. 9. Okunywa ennyo amazzi naddala agabuguma nakyo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...