TOP

Ebintu 8 ebigaana ARV okukola mu baana

Added 20th October 2016

Ebintu 8 ebigaana ARV okukola mu baana

Nze Kizza Lubega 24, nkolera mu ddwaaliro erijjanjaba abalina akawuka ka siriimu erya Makerere Joint Aids Programme Mulago (MJAP). Twazaalibwa basatu nga nze mukulu kyokka nazaalibwa n’akawuka ka siriimu ebyembi abazadde ne batufaako ne tutandika okubeera ne jjajja okutuuka kati. Mu 2000, nagenda ku kitanda e Mulago ne bankebera omusaayi ne banzuula n’akawuka era ne banteeka ku ddagala nga nnina emyaka munaana.

Eddagala lino nalimiranga buli lunaku obutayosaamu naye lyasooka kumpisa bubi nga nnafuwa, okusinduukirirwa emmeeme, olususu ne lufuukuuka ate nga linneebasa ebiri okutuusa bwe nalimanyiira ne ntereera nga wayise emyezi ebiri.

Ku myaka 10, jjajja yambuulira nti nnina akawuka ka siriimu na lwaki mmira eddagala ne nkitegeera era ne hhenda mu maaso nga ndikozesa. Kyokka nagenda okulaba nga nninga ali ku kalabba, ne ndivaako okumala emyezi munaana nga ndikooye. Tewali yali akimanyi wadde jjajja oba abasawo abaali banzijanjaba.

Nafuna ssennyiga n’ekifuba ne binkuba wansi, abasawo bagenda okunkebera omusaayi ne bakizuula ng’abaserikale mu musaayi bakendedde nnyo ne bakizuula nti mbadde sikyamira ddagala. Nabudaabudibwa okuva mu basawo era Dr. Sabrina Kitaka ye yali omusawo wange okuva mu buto ekyandeetera okukkiriza kyendi.

Lumu twagenda mu lukuhhaana mwe naweera obujulizi ku binkwatako ebyayitira ku mukutu gwa ttivvi ezimu abaana be nali nsoma nabo ne bandaba. Enkeera hhenda okuyingira mu kibiina ng’abaana bakoze obukuukuulu banjogerako, ne nneekweka emabega w’ekibiina.

Nze nali nkulembera abayizi mu ssomero naye kw’olwo byansobera, mba ndi awo mukwano gwange n’ajja n’ambuuza ne mmubuulira ekituufu naye nga takkiriza era okusinziira ku mbeera eyaliwo, yamperekerako ew’omukulu w’essomero ansalire ku magezi kuba nali sikyasobola kudda mu kibiina.

Oluvannyuma, omukulu w’essomero yayita abaana bonna ne mbabuulira, abamu baakikkiriza ate abataakikkiriza bantuukiriranga ssekinnoomu oba mu bubinja ne mbannyonnyola. Saddamu kukubibwa, kusimba nnyiriri, nga sikyagenda kwegulira byakulya nga byonna abaana babimpa. Natandika okubasomesa ku bikwata ku kawuka ka siriimu mu masomero.

Kati namaliriza okusoma nga nakenkuka mu bya kugaba ddagala era nkola ne Makerere Joint Aids Programme”, Lubega bw’amalirizaMu Uganda, abaana abeetaaga obujjanjabi bwa ARVs bali 95,000 nga ku bano, 65,000 bokka be babufuna so nga wakyaliyo n’abalala 35,000 abakyetaaga okubuteekebwako.

Ng’oggyeeko abo waliwo n’abalala bangi abatannakeberebwa kyokka nga balina akawuka ka siriimu ekiraga nti wakyaliwo omulimu munene okubazuula, Dr. Cordelia Kareebu owa minisitule y’ebyobulamu bw’agamba. Dr. Kareebu annyonnyola nti, abaana bano naddala abavubuka kyangu okuva ku ddagala kuba bakyalabirirwa bazadde baabwe so ng’abamu babeera bavubuse nga batuuse mu myaka emizibu okufuga ekiyinza okubalemesa eddagala.

Eddagala lino bwe likola obulungi, akawuka kakendeera mu musaayi nga n’ebyuma tebisobola kukalaba. Naye omuwendo gw’abaana abatuuse ku ssa lino gukyali wansi nga ku buli 100, osangako 75 oba 69 bokka.

Kino tukiraba oluvannyuma lw’okukebera obungi bw’akawuka mu musaayi (Viral load test). Bwe tuzuula ng’abaserikale beeyongedde okukendeera mu musaayi, tukubaganya ebirowoozo ku bujjanjabi obulala omwana ono bwe yeetaaga ne tumukyusiza ate bwe baba beeyongeddeko kiba kiraga nti eddagala limukoledde bulungi era tumubudaabuda nga bw’agenda mu maaso okukozesa ekika ky’eddagala ly’abaddeko. Ebivaako eddagala okugaana okukol a

1 Dr. Sabrina Kitaka, omukugu mu kujjanjaba abaana e Mulago agamba nti abaana abazaalibwa n’akawuka ne batandikirawo obujjanjabi obw’ekika kya sirapu ya ‘Nevirapine’ yekka, batuuka ekiseera ng’eddagala terikyabakolera kuba akawuka kabeera kalimanyidde.

2 Obutamira bulungi ddagala: Kitaka annyonnyola nti, bakizudde ng’abaana okuva nga baakazaalibwa okutuuka ku myaka 19, abasinga tebamira bulungi ddagala. Kino kivaako akawuka ka siriimu okutandika okwegiriisa n’okufuna amagezi g’okwepena eddagala ekirireetera obutabakolera bulungi.

3 Abazadde abamu tebannyonnyolwa bulungi mugaso gwa ddagala lino n’engeri gye balina okugabiriramu abaana eddagala ekibalemesa okutuukiriza obukwakkulizo bwalyo n’okulisobya.

4 Okubeera ewala n’eddwaaliro: Abantu abamu babeera wala n’amalwaliro era mu kunoonyereza ennyo, kizuulibwa ng’abasinga bakozesa eddagala ate ne balivaako. Oluusi bwe beewandiisa ne batandika eddagala, tebakomyawo baana okuggyako nga balwadde ekiwa omwagaanya akawuka okwalula mu musaayi .

5 Waliwo abafuna eddagala ekkyamu: Doozi y’eddagala lino esinziira ku buzito bw’omubiri gw’omwana era ng’egenda ekyuka gy’okoma okukula.

6 Okukyawa eddagala: Ekizibu kino kisinga kubeera mu bavubuka olw’enkyukakyuka ze bayitamu, kuba bwe yeetunuulira alaba nga mulungi n’atya okumira eddagala mu budde nga banne bamulaba.

Abamu balikyayira ddala ne balivaako okumala ekiseera okutuusa ng’afunye obulwadde obumukuba wansi n’atwalibwa mu ddwaaliro. Abaana abali mu myaka gino beetaaga okuteekebwateekebwa mu birowoozo n’akkiriza kyali n’omugaso gw’eddagala ly’amira kimusobozese okulijjumbira. Bw’abeera mu kisulo, ofunayo omuntu ku ssomero eyeesigika ng’omusawo, kansala w’abaana, metulooni oba omu ku basomesa gw’obuulirako n’amukubiriza okulimira.

7 Endya embi: Eddagala erimu likendeeza omusaayi ate bwe kisangibwa ng’omwana ono talya bulungi kuwagira mubiri kukola musaayi gumala, amaanyi gamuggweeramu ddala. Jjukira eddagala lino lirina okukolera wamu n’emmere naye omwana bw’aba talya bulungi, kibeerera kizibu omubiri okwejjanjaba ekiremesa eddagala okukola obulungi.

Mu mbeera eno, omwana muwe ebika by’emmere byonna naddala ebirimu Vitamiini kuba awagira omubiri gwe okwerwanako.

Muliise: Ebibala, enva endiirwa, emmere ezimba omubiri nga ebyennyanja, mukene, enkejje, ebijanjaalo, enkoko n’endala. Muwe emmere emuzzaamu amaanyi aleme kunafuwa kuba eddagala lyamira lya maanyi.

8 Alina okunywa ennyo, oyinza okumuwa amazzi ameereere oba omubisi oguva mu bibala naddala ogusogoleddwaawo okusaabulula obutwa obumulimu okusobozesa omubiri okukola obulungi.

Obulabe obuva mu kuva ku ddagala l Omwana bw’oba tomuwa bulungi ddagala, obwerinzi bw’omubiri gwe bunafuwa ekivaako okufuna endwadde omuli: ekifuba, ssennyiga, omusujja, embiro, akafuba, okukogga n’okulwalalwala. l Kiwa omukisa obuwuka okwalula ng’eddagala terikyabukolako bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu