TOP

Engeri gye weegobako endwadde ng'okozesa ekika ky'omusaayi gwo

Added 27th October 2016

Omanyi ekika ky'omusaayi gwo? Omanyi abomusaayi gwo bye balina okulya okuba abalamu?

 Emmere eno eriibwa buli muntu awatali kwawula kika kya musaayi na mubiri.

Emmere eno eriibwa buli muntu awatali kwawula kika kya musaayi na mubiri.

Bya OLIVE LWANGA

OMUNTU ayagala okuwangaala n’okubeera omulamu olina okufuuka omusawo w’obulamu bwo. Kino okikola ng’ofaayo okumanya ekika ky’omusaayi gwo n’omubiri gwo olwo n’olya n’okukola ebyo ebikwatagana nabyo.

Dr. Ismail Tamale omukugu mu kujjanjabisa emmere, agamba nti omuntu okubeera omulamu obulungi, obulamu olina okubutambuliza ku mpagi ssatu omuli:

1 Okulya emmere ekwatagana n’omusaayi gwo wamu n’ekikula ky’omubiri gwo.

2 Okukola dduyiro akwatagana n’omubiri gwo.

3 Okweyisa mu ngeri ekwatagana n’omubiri gwo.

Emu ku mmere ekkirizibwa aba’ekika ky’omusaayi gwa B ne AB

 

EBIKA BY’OMUSAAYI

Dr. Tamale annyonnyola ku bika by’omusaayi: Ebika by’omusaayi bya mirundi ena omuli: O, A, B, ne AB. Era ng’abantu 50.7 ku 100 balina kika kya O; 25.2 ku 100 balina A; 20.6 ku 100 balina B; 3.5 ku 100 balina AB.

Ate emibiri gy’abantu giri mu bika mukaaga omuli:

1 Hunter: Bano basinga kubeera ba kika kya musaayi ekya O. Ebibatu by’engalo zaabwe bibaamu obusaze obweru, engalo esonga ebeera mpavu okusinga egendako empeta. Batera okubeera abawanvu nga batonotono, babeera n’amaanyi mangi, bakozi nnyo. Batera okutawaanyizibwa mu nnyingo ne alaje.  

2 Teacher: Babeera ba A ne AB, omubiri gwabwe gulwanyisa mangu endwadde, bakkakkamu, baagala okubeera mu bimuli oba mu nnimiro. Bawanvuwa okuva mu kiwato okudda waggulu okusinga ekitundu kya wansi. Tebeetaaga kumala galya kuba olubuto lwabwe lwesiba mangu. omubiri gulwawo okumanya nti gulumbiddwa, si kyangu kya kubalimba kuba babuuza nnyo. Batawaanyizibwa amawuggwe, olubuto okwesiba ne kookolo w’amabeere.

3 Gatherer: Mubaamu ab’ekika kya O ne B, engalo esonga ewanvuwa okusinga ey’empeta. Obwongo bwabwe bukola nnyo, baagala nnyo ebirowoozo ebipya, balemerako tebakoowa, babeera bagimu ng’abakyala banguwa okufuna embuto. Batera okwerabira, sukaali, omugejjo ne kookolo w’omumwa gwa nnabaana bitera okubakwata.

4 Nomad: Babeera ba kika kya B ne AB, engalo esonga n’ey’empeta zitera okwenkana, ekitundu ekya wansi ky’ekisinga obuwanvu. Amannyo gaba matonotono, batera okusirika naye nga bagezi, bw’anyiiga asirika, balina obwerinzi bw’omubiri bwa maanyi. Bakkakkanya mangu situleesi, ssennyiga y’asinga okubatawaanya.

5 Warrior: Abeera wa A ne AB, omusaayi gukwata mangu, emitwe giba miwanvu. Babeera ba maanyi, bawona mangu obulwadde, baba balungi mu buvubuka, wabula bagejja. Balwala nnyo sukaali, olubuto n’omugejjo.

6 Explorer: Babeeramu aba A, B, O, AB, tebanywa kaawa, obuwoowo n’eddagala ebiwunya bibayisa bubi, ekitundu ekya waggulu kiba kiwanvu ku kya wansi.

Bawandiisa kkono, babeera bagezi, baagala okutandika bizinensi, okukola emirimu emingi omulundi gumu, balwala mangu. Batera okubeera n’obuzibu ku kibumba, kizibu okumanya ekibaluma naye batawaanyizibwa nnyo kandida, alaje, obutaba na musaayi.

Ky’olina okumanya nti, obulwadde bwonna obutawaanya omuntu businga kubaawo ssinga olya ekika ky’emmere ekitakwatana na musaayi gwo.

Buli muntu alina ekika ky’omusaayi kya njawulo n’ekikula ky’omubiri nga buli omu emmere gy’alya eyinza okwawukana ku y’omulala.

Kyokka waliwo abantu abamu nga baawukanya ekika ky’omusaayi wabula ng’emibiri gyabwe gifaanagana, bano basobola okuba nga balya ekika ky’emmere kye kimu. Bano buli omu abeera alina ekika ky’emmere ky’alina okulya okusiziira ku kikula ky’omubiri gwe n’omusaayi gwe.  

GENDERERA

Omuntu alina ekika ky’omusaayi gwa O asobola okubeera Hunter, Gatherer oba Explorer.

Owa A asobola okubeera; Teacher, Explorer, oba Warrior.

Owa B asobola okubeera Nomad, Gatherer oba Explorer.

Ate owa AB ayinza okuba Nomad, Warrior, Explorer.  

EKIKA KY’OMUSAAYI GWO NE BY’OLINA OKULYA

Abalina ekika kya o (hunter) Ennyama, ekibumba, mulokoni, embuzi, endiga, enkoko, enkejje, ebiryo, entungo, French beans, ebinyeebwa ebizungu, ensigo za wootameroni. Olive oil, omuceere ogwa kitaka, obulo, entangawuzi, obutungulu, lumonde, matooke, amapeera, ffene, enniimu, obulimaawa, emiyembe, green tea.

Tebalina kulya apo, mata n’emicungwa. Bakola dduyiro wa kwegolola, okutambula, okuzina n’okudduka.  

Ab’ekika kya A, AB (Teacher):

Bano balya: Embuzi, ennyama y’endiga, amagi, omuzigo, yogati, French beans, kawo, ebijanjaalo bya kanyebwa, soya, omuceere, ovakedo, kaloti, emboga, entangawuzi, ensujju, entuntunu, amapaapaali, ennaanansi, enniimu, omubisi gw’enjuki.

Dduyiro gwe bakola wa kutambula, okulinnya ensozi ne yoga.

Ab’ekika kya O oba B (Gatherer)

Balya embuzi, mulokoni, ssekkoko, kawo, obujanjaalo obweru, doodo, ebbugga, obulo, omuceere, olive oil, obutiko, lumonde, ennyaanya, ennaanansi, wootameroni. Bye balina okwewala mulimu: mubisi gwa apo, bbiya ne kaawa.

Dduyiro bakola wa Aerobics, okuzannya ttena, yoga, okuwuga.  

Ab’ekika kya B ne AB (Nomad) Bano balya ennyama, enkoko, ebyennyanja, mukene, enkejje, ssemutundu, amagi, emboga, kaloti, kawo, omuceere, lumonde, akalo, ppiya, omuzigo, apo, entende, obutunda, bbiya, yogati. Tebalya matooke n’amata.

Dduyiro waabwe wa kubuuka muguwa, okudduka, okuzannya golf, okutambula ng’oyanguwa, okulinnya akasozi, okudduka, okuzannya ensero, ttena, yoga n’okuwuga.

Aba A/AB (Warrior)

Balya kawo, ebinyeebwa ebizungu, soya, ensigo za wootameroni, engaano, cukamba, ensujju, omubisi gw’ennaanansi. Dduyiro bakola wa: kulinnya kasozi, kuzannya ttena n’okuwuga.

Abalina O, A, B, AB (Explorer)

Balya akamyu, obugubi, obulo, omuceere omweru ne kitaka, entangawuzi, okra, amapeera, obutunda, enkomamawanga, wootameroni, enniimu, omubisi gw’enjuki. Tebalina kunywa sooda, mata, wayini, kaawa, bbiya, sukaali.

Dduyiro balina kukola wa kutambula okw’amaanyi, okulinnya obusozi, aerobics, okudduka, okuzina, n’okuzannya ensero.  

 

EBIZIBU BY’OKULYA EMMERE ETEKWATAGANA NA MUSAAYI

Ssinga omuntu alemererwa okulya emmere ekwatagana n’omusaayi gwe oba ekikula ky’omubiri gwe afuna ebizibu omuli: Okwesiba olubuto; ekikeeto; okusumagira ng’omaze okulya.

Omukka mu lubuto; olubuto okukaaba; okukoowa; endwadde z’olususu; okuwunya akamwa. Emmere tewonya ndwadde wabula ezitangira Dr. Ludovic Zirimenya, owa Hospice - Uganda e Makindye agamba nti omuntu kiba kirungi okumanya oba okwekebeza ekika ky’omusaayi gwe kuba:

Ssinga omuntu yeetaaga omusaayi mu bwangu okugeza abafuna obubenje kyanguyira abasawo okumuwa ogukwatagana n’ogugwe.

Mu balongoosebwa ssinga balaba nga yeetaaga omusaayi omulala bw’aba amanyi ekika ky’omusaayi gwe bamubuuza mangu era n’afuna agumuwa.

Abakyala abali embuto beetaaga okumanya ekika ky’omusaayi okwewala omwana okufuna obuzibu. Ssinga omukyala abeera alina ekika ky’omusaayi ogwa B- ate ng’omwana alina B+ omusawo aba alina okumuwa amagezi ku ky’asobola okukola okutaasa omwana we.

Ssinga baba baakulongoosa ne bakussaako omusaayi ogutakwatagana na gugwo kiyinza okutaataaganya obutoffaali bw’omusaayi ne kikukosa.

Omuntu bw’aba ayagala okukebera omusaayi agenda mu ddwaaliro lyonna eddene kuba tegulina kyuma kya njawulo kigwetaagisa kugukebera n’oyambibwa.

Ate bw’oba ogenda okukukebera tolina kye weetaaga kuba nakyo era tekikwetaagisa kiseera kinene wadde okubudaabuda.

Okukozesa emmere mu bujjanjabi kikolebwa kutangira ndwadde so si kuwonya.

Omuntu afuna emmere erimu ebiriisa esobola okumutangira ezimu ku ndwadde ezandimulumbye.

Ssinga afuna ebibala, emmere ezimba omubiri, ewa amaanyi ekuyamba okukuuma omubiri nga mugumu okulwanyisa endwadde ezandigulumye.

Emmere eyamba okuzimba obwerinzi bw’omubiri omuntu n’atalumbibwa bulwadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...