
Omwanang'awomerwa ffene
Bya BONITAH KIBALAMA
ABANTU bangi balya ebibala naddala ffene kyokka nga tebafudde ku migaso kuba bangi balya kuwoomerwa.
Ffene kibala kya migaso mingi eri obulamu bw’omuntu nga Dr. Nathan Kaijuka owa Den Clinic bw’annyonnyola:
1. Alimu ebirungo nga Zinc, Sodium, Potassium, Magnesium ne Vitamins A, B, ne C. Bino byonna bw’obigatta biyamba omuntu alya obutafuna nkanyanya n’asigala ng’alabika ng’omuto.
2. Bw’olya ensigo za ffene nga mbisi ziyamba okugonza olubuto n’otokaluubirirwa mu kufuluma.
3. Ensaano y’ensigo za ffene eyamba okuyooyoota oluusu ssinga obeera ogitabuddemu amata.
4. Olw’ekirungo ekizimba omubiri ekisangibwa mu ffene, kiyamba omubiri okukula obulungi.
5. Olwa Vitamiini C alimu, ffene ayamba enviiri okukula n’okulabika obulungi.
6. Ekirungo kya Carbohydrates ekirimu kiyamba omubiri okufuna amaanyi ageetaagisa mu mubiri ne gukola bulungi.
7. Ng’ebibala ebirala, ffene ayamba mu kulwanyisa ekirwadde kya kookolo.
8. Ataasa ekirwadde ky’okuggwaamu omusaayi.
9. Mulimu ekirungo ekigumya amagumba.
10. Ayamba ku kuziyiza endwadde z’omutima, puleesa ne alusa.
Obulabe obuli mu butalya ffene
- Osobola okusannyalala.
- Okulumwa amannyo n’amagumba naddala mu nnyingo.
- Okukaluubirirwa mu kufuuyisa oluusi n’okufulumya omusulo.
- Okubeera n’omusaayi omutono ekivaako okulwala obulwadde ng’obw’omutima, sukaali, alusa n’ebirala.
- Okusiiwuukirira n’okuyubuka omubiri.