TOP

Sikoseero bweyongedde lwa bazadde buteekebeza -Basawo

Added 9th March 2017

Omwana wange eyasooka, yafuna ekifuba ng'alina emyezi mukaaga ne bamujjanjaba ate bwe yaweza emyezi munaana n’azimba okugulu ng'akaaba nnyo.

 Madiang n’omwana we alina sikoseero.

Madiang n’omwana we alina sikoseero.

Bya RUTH NAZZIWA

Sikoseero bulwadde obweyongera mu bantu buli lukedde ekyeraliikirizza abasawo.

Uganda y’emu ku nsi ezisinga okutawaanyizibwa obulwadde bwa sikoseero era abaana 25,000 be bazaalibwa ne sikoseero buli mwaka ate nga 80 ku buli 100 bafa tebannaweza myaka etaano, Dr. Hasfah Kasule ow’ekitongole ky'ebyobulamu eky’ensi yonna bwe yategeezezza.

Ye Namukose ow'e Kawempe alina abaana ba sikoseero babiri era bw’ati bw’agamba.

Obuzibu abantu abamu balowooza ddogo n’okulowooza nti busiigibwa bwe batyo ne basuulirira abaana abazaalibwa nabwo ne bayita mu bulumi obwandijjanjabiddwa ne bukkakkana n’okuziyizibwa wadde nga tebuwona.

Nasrine Namukose, ow’e Kawempe alina abaana bana naye nga babiri ku bo balina sikoseero.

Dr. Herbert Luyima,ng’akebera omwana wa sikoseero e Mulago.

 

Annyonnyola by’ayiseemu ne bwe yazuula nti balwadde ne bw’abalabirira.

“Omwana wange eyasooka, yafuna ekifuba ng'alina emyezi mukaaga ne bamujjanjaba ate bwe yaweza emyezi munaana n’azimba okugulu ng'akaaba nnyo.

Nasooka kulowooza oba banne bamugwiridde nga bazannya n’amenyeka.

Wabula waliwo omukyala omukulu eyanfumbira eddagala ne mmuvumbavumba n’atereera.

Kyokka bwe yaweza omwaka, yenna yafuuka kyenvu ne ngenda mu ddwaaliro e Kibuli gye bakizuulira ng'alina sikoseero.

Saasooka kukkiriza era ne kitaawe saamugamba n’ebbaluwa nazikweka kuba nali mpulira nti aba sikoseero tebawona.

Oluvannyuma namunoonyeza eddagala ery’emiti n’atereera okumala emyaka ebiri.

Gwe naddako okuzaala yali mulamu kyokka eyasembayo naye alina sikoseero.

Ono ye bwe yaweza omwaka gumu, yasooka kuzimba mugongo nga kitaawe alowooza yavudde ku kagaali n’agwa.

Omwana omulwadde wa sikoseero

 

Olw’okuba nnali mbumanyi, natuula ne munnyonnyola era ne tugenda ffembi mu ddwaaliro ne batubudaabuda n’okutusomesa ebisingawo ku sikoseero ne tutandika okujjanjabisa abaana baffe.

Mu kiseera kino omwana waffe omukulu wa myaka 14 ng'asoma p.4 naye yasannyalala naye agenda atereera.

Okusoomoozebwa okusinga obunene kubeerawo nga bombi obulwadde bubalumbye omulundi gumu.

Buli omu abeera akwetaaga nga bali mu bulumi n’osoberwa naye nga bombi olina okubayamba era nina essuubi nti bajja kuba bulungi”, Namukose bw’amaliriza.

Sarah Opendi, akola guno na guli mu Minisitule y'ebyobulamu agamba nti mu Uganda mulimu disitulikiti 47 ezisinga okubeeramu obulwadde era nga bwegiriisiza mu bitundu by'omu bukiikakkono bw’eggwanga, mu bukiikaddyo ne mu masekkati g'eggwanga.

Mu disituliki ezisinze okukosebwa sikoseero kuliko: Kampala, Masaka ne Buikwe.

Buva ku ki?

1 Opendi annyonnyola nti, abantu bangi bafumbiriganwa tebamaze kwekebeza bulwadde bwa sikoseero ne bweyongera okusaasaana.

Era buli mwaka, abaana 25,000 be bazaalibwa ne sikoseero mu maka kyokka 80 ku buli 100 bafa tebannaweza myaka etaano.

Obulwadde buno busobola okwewalika naye tebulina ddagala libuwonya.

2 Obulwadde buno butambulira mu musaayi era tusobola okubutangira ssinga abantu beekebeza nga tennazaala.

Omuntu bw’amanya bw’ayimiride asobola okukola okusalawo okulungi. Omuntu alina akasigo ka sikoseero, yandibadde afumbirwa oba okuwasa omuntu atakalina okuzaala abaana abalamu.

Naye bwe mukizuula nga mubazadde, mufube okubagemesa, okubalabirira n'okubajjanjabisa obulungi okusobola okubakuumira mu bulamu obweyagaza baleme kukosebwa bulwadde.

OBUBONERO

  1. Okuzimba naddala emikono, amagulu, mu kifuba, olubuto n'ebitundu ebirala.
  2. Okulumizibwa
  3. Amaaso gafuuka kyenvu n'ebitundu by'omubiri ebirala.
  4. Okuggwaamu omusaayi
  5. Yinfekisoni naddala ez'omu kifuba.
  6. Okukonziba
  7. Ssinga omwana oba omuntu omukulu afuna obumu ku bubonero buno, mutwale mangu mu ddwaaliro bamwekebejje. Obulabe bwa sikoseero
  8. Okusannyalala
  9. Ebitundu by'omubiri bikosebwa naddala ekibumba, omutima n'ebirala.
  10. Oyinza okuziba amaaso.
  11. Okufuna amabwa agatawona n'ebirala.

OBUJJANJABI

  • Baweebwa eddagala eribayamba obutaggwaamu musaayi.
  • Vitamiini ezireeta ekyagala okulya.
  • Eritangira n’okujjanjaba omusujja.
  • Eddagala eritangira yinfekisoni z'omu musaayi, mu kifuba nga senyiga, ekifuba, lubyamira naddala mu baana abali wansi w'emyaka etaano.
  • Era tubakubiriza okubagabirira emmere erimu ebiriisa byonna n’okunywa ennyo amazzi kisobozese omubiri okukola obulungi.

 

Endabirira y'owa sikoseero

Leah Madiang w’e Mutungo - Biina, agamba nti: “Omwana wange namuzaala mulamu bulungi naye okutegeera nti alina sikoseero yasooka kundwalirira ku myezi ena amaaso ne gafuuka kyenvu era abamulabako baagamba nti, alina obulwadde bwa kamuli.

Bandagirira ew'omukadde n’ampa ku ddagala egganda nga mmunywesaako n’okumutonyeza mu maaso naye nga yeeyongera kulabika bubi.

Namukebeza sikoseero emirundi esatu ng'ebiri giraga nti abulina ekyammalamu amaanyi n'omwana ne mmukyawa okutuusa bwe nalaba ow'abaana bana nga bonna balwadde ne neebuulirira mu mutima kwe kugenda ne muwandiisa e Mulago n’atandika okujjanjabibwa.

Abasawo bangamba okumuzzaayo buli mwezi okumukeberako era buli mwezi mmuzzaayo ne bw’aba mulamu.

Nfuba okumuyonsa kubanga amabeere gayamba abaana okukula obulungi era y’ensonga lwaki taddirira.

Mmugabirira ku bika by'emmere eby'enjawulo era nze leero bw’alya ku nyama n'ettoke, enkya mukyusiza n’oluddako bwatyo asobole okubeera omulamu obulungi.

Ebyokunywa nabyo mbikyusa ne mmuwa ku busera, obuugi bwa kasooli, obutunda n'ebibala ebirala nabyo mbikamula ne mmuwa n'amazzi g'okunywa kuba gayamba obutoffaali obuteegatta n’alema okufuna obulumi mu nyingo.

Essweeta sigimulesa kubanga saagala mpewo kumufuuwa kuba ebayisa bubi.

Bw’afuna obulumi, mbugumya amazzi ne muvumbavumba okutuusa lw’atereera.

Okwo nyongerezaako okumuwa obulungi eddagala n'okugondera amateeka g'omusawo era ky’ekimulabisa obulungi, Madiang bw’amaliriza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...