TOP

Endwadde musanvu eziva mu kwewunda

Added 21st December 2017

Endwadde musanvu eziva mu kwewunda

 Omukyala nga yeetegereza ebyokwewunda by’oku matu

Omukyala nga yeetegereza ebyokwewunda by’oku matu

EBISEERA bya nnaku nkulu abakyala bangi beetala banoonya byakwambala omuli n’ebyokwewunda. Mu bino mulimu eby’omu bulago, eby’oku matu, n’ebirala. Wabula bangi tebafaayo kumanya buzibu buyinza kuva mu byakwewunda ebimu.

Margaret Nabunje, mutuuze w’e Kansanga yazimba amatu olw’okukozesa eby’okwewunda ebitakwatagana na mubiri gwe. Anyumya bw’ayiseemu: Nsanze obuzibu bunene n’okuzimba amatu olw’okugawummula ne gateekebwamu obuuma obutaakwatagana na mubiri gwange.

Mmaze n’obuzibu buno ebbanga ddene naye bummazeeko emirembe kuba byongera okuzimba buli lunaku.Bazadde bange bampummula amatu ne gawona bulungi, wabula oluvannyuma bwe baatandika okugateekamu ppini z’amatu ne gatandika okuzimba. Bantwala mu ddwaaliro ne banzijanjaba ne gawona naye bwe nagenda nkula naddamu okugawummula ne nteekamu ppini entono, tekyatwala kiseera kinene nagenda okuwulira nga gansiiwa buli kiseera era wayitawo ekiseera kitono ne gatandika okuzimba, wadde nalekayo okugateekamu ppini tegaalekayo.

Gaazimba ne ngatwala mu ddwaaliro ne bagalongoosa ne gabeera ng’agawonye, wabula waayita ekiseera kitono ne gaddamu okuzimba era kati nnoonya ssente ndala kuddamu kugalongoosa. Simanyi oba ku mulundi guno ganaatereera kuba ekiseera kituuka ne gatandika okunsiiwa.

Ng’omuntu sikyalina bulungi mirembe kubanga buli muntu gwe mpitako antunuulira, ssinga amatu gange gawona sisobola kuddamu kuteekamu ppini kuba sifunanga ko mirembe ate nga nkimanyi bulungi nti ppini ze zaavaako obulabe bwe nnina,” Nabunje bw’amaliriza.

Buli lukya abakola ebyokwewunda by’abakyala baleeta ebipya omujjira n’ebicupuli ebireeta endwadde.

EBIZIMBYA AMATU Dr. Steven Mukasa, okuva ku St. Vincent Hospital Mengo yagambye nti ppini ezissibwa mu matu n’ennyindo ze zisinze okubeera ez’obulabe eri abazikozesa. Zino ziri mu bika bisatu; eza zaabu, feeza n’ekikomo naye nga buli kika kirina obulabe bwe kikola ku muntu ssinga zibeera nkyamu.

1 Ppini ezisinga zivaako langi ekwatira mu kituli ekiba kiwummuddwa mu kutu oba ennyindo oluvannyuma okutu ne kutandika okuzaala amasira n’amazzi, olw’okuba ebituli biba bizibikidde okutu ne kutandika okuzimba.

2 Abantu bangi bambala ebintu bino ne bamala ebbanga nga tebabikyusizza bw’eba ppini etandika okukwatira mu kutu obucaafu bwonna obubeerako nga buyingira mu mubiri oluusi n’obutalavvu, ekivaako okutu okutandika okusiiwa n’okuzimba.

3 Obuzibu obulala, abantu oluwummula amatu tebayisaawo nnaku nga bateekamu ppini. Jjukira okutu kuba kukyali kubisi olw’ebbwa ekyanguyiza obucaafu n’obuwuka okugendamu kubanga abamu baziteeka.

4 Abalala baziteeka mu matu nga tebamaze kuzirongoosa.

5 Ekirala, emibiri gy’abantu gya njawulo, waliwo ababeera ne kabootongo ekyanguya amatu okuvunda.

ENDWADDE EZIVA KU BYOKWEWUNDA

1 Okuzimba kw’amatu era kuno kulabika mangu.

2 Kookolo w’olususu naye kyangu okukukwata.

3 Akawuka akaleeta siriimu kayinza okukukwata ssinga ogabana ppini eziwummula amatu n’omuntu omulala.

4 Ebyuma ebikozesebwa oluusi tebiyonjebwa bulungi bannannyini byo nga kyangu okusaasaanya tetenaasi (mulalama).

5 Okufulumya amasira buli kiseera awamu n’omusaayi.

6 Ekiziyiro, olw’okuba abamu bawummula ebituli mu nnyindo ppini ze bateekamu ne zizibikira emiwaatwa egiyingiza empewo nga tesengejjeddwa ekisobola okuvaako omuntu okuziyira.

7 Obulwadde bw’amaaso, okusinga buva ku ppini eziteekebwa ku maaso.

OKUTANGIRA OBUZIBU l Abantu bettanire ebyokwe wunda ebya pulasitiika kubanga byo tebivaako nnyo langi ate tebifumita mubiri.

l Nga tonnawummula matu na kuteekamu kintu kyonna sooka ogende ew’omusawo w’ensusu akukebere akubuulire oba omubiri gwo tegusobola buzibu ng’oguwummudde. l Bw’oba okozesa ppini oba ekintu ekirala kyonna, tolina kukisuza mu kutu kuba kyangu okukeera ku makya nga wafunye obuvune.

l Ppini nga tonnagiteeka mu kutu sooka ogifumbeko obuwuka bufe, bw’oba tokisobodde kwata ppamba omunnyikeko mu mazzi agookya ogiyiseeko. Kino kikole buli lunaku nga tonnakozesa kintu kyonna ku kutu kwo oba ku kitundu ky’omubiri ekirala kyonna. Wabula fumba eyo gy’omaze okukakasa nti si ya kicupuli nti era tesobola kuvaako langi kukuleetera buzibu.

l Togabana byakwewunda by’amatu na muntu mulala okwewala okufuna obulwadde obutali bumu kuba buli muntu alina obuzibu obubwe.

KW’OLABIRA EBYOKWEWUNDA EBICUPULE Nisha Kaweesi, atunda ebyokwewunda e Kasubi yagambye nti, kituufu ebintu bye batunda oluusi bibeera bicupuli ebivaako obulabe obutali bumu ku mibiri gy’abantu. Ppini ze zisinga okukolebwamu ebicupuli nga kizibu omuntu okwawula ennungi n’embi ng’okuzimanya kikwetaagisa okuzekenneenya ennyo nga tonnazigula.

Engeri y’okuzaawula; ppini ezikolebwa mu zaabu ezisinga zibeera mu langi ya kyenvu naye ezitali ntuufu ziba zimeremeenya nnyo ate nga ne bw’ozikwatako n’obeera ng’asangula zivaako obuntuntu. Ppini zino ze zisinga obungi ku katale era ozisanga zitundibwa ssente ntono. Entuufu zibeera ne langi enkwafu ate tesanguka ne bw’okola otya. N’ezikolebwa mu bintu ebirala nazo kye kimu.

KW’OLABIRA OKUTU OKUFUNYE OBUZIBU OLWA PPINI

1 Kukusiiwa buli kiseera.

2 Okutu kufuna ebitulututtu ku ngulu.

3 Okutu kuzaala amazzi buli kiseera.

4 Okutu kutandika okuwunya.

5 Tekulekaayo kuleeta musaayi.

EBITUNDU EBIWUMMULWA EBY’OBULABE

1 Amatu.

2 Ennyindo.

3 Amakundi

4 Olulimi. Bino byonna bisobola okuvaako obulabe ku mubiri ng'okozesezza ebyokwewunda ebickayamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omubaka omulonde Kawalya

Omubaka omulonde owa Lubaga...

Omubaka omulonde owa wa Lubaga North mu palamenti, Abubaker Kawalya, obukulembeze bwe yabutandikira mu ssomero...

Tomusange

Omuzannyi akuba munne omupi...

AMATEEKA g'omupiira agaawandiikibwa gali 17, wabula wayinza okubaawo ekintu kyonna (ekisobyo oba nedda), ng'okutuuka...

Ssenga

Omusajja alina omukazi omul...

OMUSAJJA gwe njagala tanfaako simanyi oba alina omuwala omulala nkole ki? Mwana wange mu bikolwa by'omusajja...

Byarugaba

Bakutte 3 ku by'okutemula s...

POLIISI y'e Rukiga ekutte abantu basatu abagambibwa okwenyigira mu ttemu lya ssentebe w'ekyalo eyanenyezza abavubuka...

Kyagulanyi (ku ddyo), Rubongoya ne Nyanzi ku offiisi za NUP e Kamwokya eggulo.

Kiki kye kitegeeza Kyagulan...

Kiki kye kitegeeza Kyagulanyi okuggyayo omusango mu kkooti? Bannamateeka boogedde: Munnamateeka Male Mabirizi...