TOP

Ab'e Birinzi balindiridde kulwala kkolera lwa butaba na kaabuyonjo

Added 19th September 2018

Kaabuyonjo ze tusima mu musenyu okw'enkuba zibooga kazambi n'ajjula enju zaffe

 Omwana ng'asena amazzi amajama ge bakozesa

Omwana ng'asena amazzi amajama ge bakozesa

Bya Phiona Nanyomo

Embeera y’ebyobulamu ku kyalo Birinzi mu ggombolola ya Bukakkata e Masaka yeeraliikirizza abakulembeze n’abatuuze abawangaalira mu kitundu kino nga bagamba nti bandirumbibwa endwadde enkambwe ezeekuusa ku bujama nga kkolera.

Kino kivudde ku kaabuyonjo ezizimbibwa mu kitundu kino  nga mu biseera by’enkuba zibimba kazambi yenna n’adda kungulu n’akulukutira mu nzizi ze basenamu  amazzi ge bakozesa okufumba, okunywa, okunaaba, okwoza n’ebirala n’ayingira ne mu mayumba g’abatuuze.

Ssentebe Buyondo ng'alaga emu ku kaabuyonjo ezaagwaamu oluvannyuma lw'enkuba okutonnya

 Ssentebe w’ekyalo kino Ssaalongo Flugensio Buyondo, agamba nti kaabuyonjo abatuuze ze basima teziwangaala olw’ensonga nti ettaka kwe bazisima lya musenyu ng’enkuba bwetonnya omusenyu gusituka wansi olwo kaabuyonjo ne zibimba okukkakkana nga kazambi akulukutidde mu nzizi n’ennyanja Nalubaale ebeetoolodde.

Ssaalongo Buyondo annyonnyola nti, mu biseera by’enkuba babeera mu bweraliikirivu obutagambika era nga batawaanyizibwa obulwadde bw’omusujja gw’omu byenda nga kino kiva ku mazzi ge bakozesa agabeera gakulukutiddemu kazambi.

Buyondo agamba nti, kaabuyonjo okuwangaala emyaka 6 omuntu kimwetaagisa okukozesa ssente ezisoba mu bukadde 3 ky’agamba nti abatuuze bangi tebazirina kubanga enfuna yaabwe nnafu.

Kuno kusoomoozebwa kwa maanyi kubanga obulamu bwabwe mu biseera by’enkuba bubeera mu katyabaga naddala abaana abato.

Kino akitadde ku bakulembeze ba disitulikiti baagamba nti tebavuddeeyo ku bazimbira kaabuyonjo ey’olukale etuukanye n’omutindo kyokka ng’ensonga eno baagibategeezaako dda.

Ssentebe Buyondo ng'alaga oluzzi mwe basena amazzi amajama

 Amyuka ssentebe wa disitulikiti y’e Masaka, Janat Nakiseka agamba nti baakizuula nga kaabuyonjo z’abatuuze bwe zitasobola kuwangaala olw’okuba nti ettaka lyabwe lya musenyu nga beetaaga okuzimbirwa kaabuyonjo etuukanye n’omutindo.

Agamba nti, buvunaanyizibwa bwabwe okuzimbira abatuuze bano kaabuyonjo esobola okuyambako ku mbeera eno wabula ekikyalemesezza kwe kuba nti disitulikiti ebadde tennafuna ssente zeetaagisa kuzimba kaabuyonjo abatuuze gye beetaaga.

Slyvia Naluyima

 

“Kaabuyonjo gye twetaaga okuzimbira abatuuze bano yeetaaga okusooka okuzimba wansi n’amatoffaali, enkokoto ate ng’ejja kuba nga yaakunuunibwamu buli lw’ejjula era nga tulina okukozesa ssente eziwerako,” Nakiseka bw’agamba.

Nakiseka asaba abatuuze okwekolamu omulimu gw’okukuuma obuyonjo kibasobozese okwewala endwadde eziyinza okubakwata nga ziva ku bujama.

Abatuuze basinga kutya bulwadde

Hasifah Nagawa: Mu biseera by’enkuba abaana baffe n’abantu abakulu tulumbibwa nnyo obulwadde bw’ekiddukano, omusujja gw’omu byenda nga biva ku mazzi agalimu kazambi ge tukozesa.

Slyvia Naluyima: Tusanga okusoomoozebwa kw’okufuna obujjanjabi ku bulwadde ng’omusujja gw’omu byenda olw’amalwaliro agatwetoolodde obutaba na ddagala liguvumula noolwekyo tusaba be kikwatako okutuzimbira kaabuyonjo amangu.

Mathias Kalema: Ssinga tufuna kaabuyonjo tujja kuba tuwonye okulumbibwa endwadde ez’okumukumu kubanga ne ssente ez’okutwalanga mu malwaliro okufuna obujjanjabi zitwekubya mpi.

Dominic  Jjumba: Tusaba abakulembeze ku disitulikiti okutulowoozaako etuzimbire kaabuyonjo esaanidde kubanga embeera gye tuwangaliramu teyeeyagaza.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...