
Harriet Luzinda
December 1, lwe lunaku olwaweebwayo okujjukira n’okwefumiitiriza ku siriimu mu nsi yonna. Mu kaweefube w’okulwanyisa okusaasaana kw’akawuka akaleeta siriimu, BUKEDDE agenda kukuwandiikira emboozi ez’enjawulo okumala omwezi mulamba ng’akulambikira byonna by’oteekwa okumanya ku siriimu.
Tugenda kukulaga n’olugendo lwa siriimu okuva lwe yazuulibwa okutuuka leero n’ebituukiddwaako nga bwe tukuba ne ttooci ku ssuubi ly’okuzuula eddagala erimugema n’okumuwonya. Omulamwa gw’omwaka guno gugamba nti, “Manya bw’oyimiridde”, era mu ngeri eno, mu mboozi yaffe esookedde ddala, tutunuulidde obukulu bw’okuzuula w’oyimiridde n’engeri abantu gye batambuzaamu obulamu bwabwe oluvannyuma lw’okumanya kye bali.
NNEEKEBEZA LUVANNYUMA LWA KULWALALWALA Okufumbirwa ky’ekirooto kya buli mukyala. Hanifer Namubiru. Agamba nti, yafumbirwa muto kyokka nga bba yali mukulu ddala okumusingako.
Bba yali mutambuze, kyokka nga ku myaka gye yalina, yali tamanyiddeeko ddala kyakukola era buli mbeera eyamutomeranga yagitunuuliranga butunuulizi. “Twazaala abaana 4, wabula nga wayise akaseera, natandika okulwalwala wabula nga sitegeera kindiko era bwentyo, nafuna ekirowoozo eky’okwekebeza kuba olwo nali nkuzeemu. Bwe bankebera, nazuulibwa nga nnina akawuka ka siriimu era kyankanga kubanga nali nkimanyi nti baze alina abakazi bangi wabula eky’okubeera omulwadde nga sikirowoozangako.
Naddayo eka ne mbuulira baze wabula yanziramu nti, akawuka yali yazaalibwa nako era nti si ye yali asoose.Nga mmaze okukkiriza embeera yange mu bulumi obungi, natandika okumira eddagala era nga mu kiseera kino embeera yange ensobozesa bulungi okwerabirira n’okulabirira abaana bange wadde nga nneetaaga okunsuula omukono mu bya bizinensi.
Omwana wange yannyamba okwekebeza Irene Namukasa: Mu biseera byange nga nkyasoma, nalina abaagalwa abawerako nga sifaayo ku bya kwekuuma. Ku myaka 15, nafuna olubuto ne nzaala omwana wange wabula nga mu bbanga lino lyonna nga sigenda mu ddwaaliro kunywa ddagala anti ne mu kuzaala, nazaalira mu kalwaliro ku kyalo.
Omwana yandwalirira ne mmutwala mu ddwaaliro, wabula nga bwe bamujjanjaba tatereera. Abasawo baasalawo akeberebwe obulwadde oba alina akawuka ka siriimu era n’azuulibwa ng’akalina.
Kino nange kyampaliriza okwekebeza era nange ne nsangibwa nga nkalina. Kino nno kyannyigiriza era kyannumira ddala nga ndaba nnettidde omwana. Nalowooza ku bwe naabeeranga mu bannange nga nnina akawuka era nsalawo mbuulireko kitange, wabula ono olwakimanya, ate yatandika kumpita mannya gonna nga bw’asanze nga n’okutuusa kati, akyogera lwatu nti, oyo yafa dda.
Embeera eno yannyigiriza era kino ne kimpa amaanyi okumira eddagala nga mmaze okukkiriza nti kye kyokka ekinannyamba. Mu kiseera kino naddamu ne nfumbirwa era ne nzaala abaana 3 wabula bonna balamu olw’ensonga nti nafuna okubudaabudibwa okuva mu basawo mu kiseera nga ndi lubuto.
NNeekebeza NTUUSE OKUZAALA Harriet Luzinda annyonnyola nti: “Nakizuula mu 2000 nga bwe nalina akawuka ka siriimu. Nali mukyala waakubiri wabula ekiseera kyonna kye namala ne baze, saasobola kumanya nti yalina akawuka ka siriimu olw’ensonga nti amakerenda ge yagamiriranga wa mukyala mukulu.
Ne mu kufa kwa baze, nalowooza nti yali afudde musujja era okumanya nti yalina akawuka namala kugenda kuzaala. Osanga nandikitegeereddewo wabula buli lwe nagendanga okunywa eddagala nga sikkiriza kwekebeza nga ndowooza nti sirina buzibu kuba nazaala abaana abaasooka nga balamu. Nga mmaze okuzuula bwe nali nyimiridde kyampisa bubi wabula oluvannyuma lw’okukkiriza embeera yange, nakkiriza okumira eddagala era kati ndi mu mbeera nnungi n’omwana wange,” Luzinda bw’amaliriza.
KISEERA KI EKITUUFU W’OLINA OKWEKE BEREZA Abantu abasinga okugenda okwekebeza akawuka ka siriimu balinda kumala kutabuka na kugwa ku ndiri. Kino Jolly Namutebi, abudaabuda abalina akawuka ka siriimu ku ddwaaliro lya Kiswa Health Centre III, Bugoloobi agamba nti buli muntu kimukakatako okumanya obulamu bwe we buyimiridde buli lw’abeera afunye obudde.
Ono agamba nti, abantu abasinga kino bakikola siriimu atandise okulaga obubonero gamba ng’okubakuba kisipi wabula nga mu nkola entuufu, akawuka kano omuntu teyandikalinze kukula kutuuka awo. Agattako nti, ssinga omuntu abeera yeekebezza, kikulu addemu yeekebeze okumala emirundi emirala 2 buli luvannyuma lw’emyezi 3.
Ate era kisaanye abaagalana okwekebeza bombi emirundi gino gyonna. Obuvunaanyizibwa bw’akozesa alina akawuka ka siriimu Bw’obeera onoosaba emirimu egimu wano mu ggwanga gamba ng’amagye, wooteeri ennene ne kkampuni ezikola ku byokulya n’okunywa ezimu, okwekebeza akawuka ka siriimu n’okumanyisa bakama bo ku mbeera yo kye kimu kw’ebyo bye bakulembeza.
Wadde nga kino abantu bangi bakibuusa amaaso, Molly Busingye Senior Nursing Officer ku ddwaaliro lya Kiswa Health Centre III agamba nti kikulu okusobozesa abakozi abalina akawuka, okufuna obudde obugenda okujjanjabwa awatali kulemesebwa olw’okuba nti ababakozesa tebamanyi kituufu kiriwo.
Annyonnyola nti, kuno kwe kusoomoozebwa kwe basinga okufuna nga bajjanjaba abantu abalina akawuka naddala abakozi era bangi n’ennaku z’okukima eddagala zibayitako olw’okulemesebwa. Bw’atyo, Busingye agamba nti kyandibadde kya mugaso abakozesa okumanya abakozi baabwe we bayimiridde wabula nga kino balina kukikola na kigendererwa kya kubongera maanyi na kubazzaamu ssuubi so si kubaboola oba kubagobaganya.