Okulya ebibala kirungi nnyo mu bulamu bwaffe naye okiridde otya era ddi? Olina okukirya nga tonnaba kulya kintu kirala. Polofeesa Ken Anugweje agamba nti kirungi ebibala okubirya nga mu lubuto tonnassaamu kyakulya kirala.
Katugeze bw'olya ekibala ng'omaze okulya omugaati, kigenda okwagala okuyitawo kigende mu mubiri kikole omulimu gwakyo, ng'omugaati gukiziyiza.
Noolwekyo ababadde balya ekibala oluvannyuma lw'okulya emmere, mukola nsobi.