TOP

Ab'e Bukomansimbi bali mu katuubagiro k'amazzi

Added 11th March 2019

Enzizi zikalidde e Bukomansimbi abatuuze ne bava ku kunaaba n'okwoza nga n'amazzi bakozesa ga bidiba bya nte

Omwana ng'asena amazzi mu kimu ku bidiba abatuuze b'e Bukomansimbi bye basigazzaawo omuli ku mazzi.

Omwana ng'asena amazzi mu kimu ku bidiba abatuuze b'e Bukomansimbi bye basigazzaawo omuli ku mazzi.

Bya Phiona Nanyomo

Abatuuze mu magombolola okuli Kitanda ne Bigasa mu disitulikiti y'e Bukomansimbi bali mu katuubagiro oluvannyuma lw'enzizi ze babadde bakimako amazzi okukalira nga kati amazzi bagaggya mu bidiba ente mwe zinywa okusobola okufuna ge bakozesa.

 sentebe ateregga ngakebera amazzi amajama abatuuze ge bakozesa Ssentebe Kateregga ng'akebera amazzi amajama abatuuze ge bakozesa.

 

Bano nga bakulembeddwaamu ssentebe w'ekyalo Kikuuta ekisangibwa mu ggombolola y'e Kitanda baalambuza ssentebe wa disitulikiti eno Muhammad Kateregga enzizi kwe babadde basena amazzi nga zonna zaakalira nga mu kiseera kino tebalina we baggya mazzi mayonjo.

Baategeezezza nga enzizi zino bwe zibadde zibayamba nga mu kiseera kino bali mu kusoomoozebwa okw'amaanyi olw'ebbula ly'amazzi amayonjo.

 mutuuze ngalaga ekidiba kye basigazza kwe basena amazzi Omutuuze ng'alaga ekidiba kye basigazza kwe basena amazzi.

 

Bagasseeko nga bwe balina okutambula eng'endo empanvu wakati wa mayiro 3 ne6 okusobola okufuna amazzi amayonjo oba okugula ekidomola ky'amazzi wakati wa 700/- ne 1,000/- kyokka nga bangi ku bo enfuna yaabwe nnafu nga tebasobola kugagula.

Kyokka abamu ku bano baakukkulumidde Gavumenti nga bagamba nti, eringa eyabeerabira neetuuka n'okulemererwa okubasimira nayikondo nga kati eby'okunaaba n'okwoza baabivaako nga balina kumala kulinda nkuba kutonnya.

sentebe ateregga nabatuuze nga balambula ebidiba ebikaze nenziziSsentebe Kateregga n'abatuuze nga balambula ebidiba ebikaze n'enzizi

 

Bano basabye gavumenti n'abakulembeze ba disitulikiti okubakwasizaako nga babasimira enzizi oba nayikondo basobole okuvvuunuka ekizibu kino.

Ssentebe Kateregga yategeezezza nga disitulikiti eno bw'ekyalina okusoomoozebwa kw'ebbula ly'amazzi amayonjo n'agumya abatuuze ng'ensonga eno bw'egenda okugonjoolwa bwatyo n'abasaba okuba abakkakkamu. Ate n'abategeeza nga bwe balina enteekateeka y'okubasomesa engeri y'okukuumamu amazzi amayonjo kibasobozese okulwanyisa ekizibu kino.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...