TOP

Endwadde ze weeyitira olw'okukuza enjala

Added 11th April 2019

Enjala empanvu zirabisa bulungi wabula yandiba ensibuko y'endwadde ezinaakusaanyaawo.

 Abakyala obucaafu bwe batakula mu mitwe buggweera mu njala

Abakyala obucaafu bwe batakula mu mitwe buggweera mu njala

Bya Prossy Nababinge

Okola emirimu emeka olunaku? Okwata ku bantu bameka era we buzibira obeera okutte ku bintu bimeka? Emmeeza, akambe, ebikopo n'ebikozesebwa ebirala by'okwatako olunaku biyonjo kyenkana ki?

Ye ate abaffe, onaaba emirundi emeka mu ngalo era ddi? Bino bye bimu ku bibuuzo bye wandibadde weebuuza buli lunaku newankubadde nga bangi babibuusa amaaso.

Ekyo ng'omaze okukizuula, nkakasa nga kati otandise okuteebereza omuwendo gw'obuwuka ggwe wennyini gw'oyingiza mu mubiri gwo buli lunaku ate ne bw'osaasaanya eri abalala.

 njala empanvu nga zino zitereka obucaafu obubeeramu obuwuka obulwaza Enjala empanvu nga zino zitereka obucaafu obubeeramu obuwuka obulwaza

 

Okuva mu buto, tujja tulagirwa okukuuma enjala zaffe nga nnyonjo ate nga nnyimpi. Kwo okunaaba mu ngalo nga tonnabeerako ky'olya oba oluvannyuma lw'okukozesa kaabuyonjo tteeka mu masomero ne mu maka agatali gamu, naye mu kukola kino omanyi kye babeera bakutaasa?

Obadde okimanyi nti, olwala lwo olumu lwokka lulina obusobozi obukuuma n'okwaluza obuwuka obuleeta endwadde obusukka mu 1,000?

 njala ensiige zikweka obucaafu Enjala ensiige zikweka obucaafu

 

Dr. Paul Zirimala, akulira eddwaaliro lya Wakiso Health Centre IV annyonnyola nti okunaaba mu ngalo kye ky'okulwanyisa ekisinga eri obuwuka obuleeta endwadde ezitali zimu wabula nga mu kuzinaaba, kikulu okussa essira ku kuzisokoolamu obucaafu.

Ne bw'onaaba engalo naye nga tosokodde mu njala, obeera n'emikisa mingi okulwala n'okulwaza abalala.

Mu bakyala, obeera n'omukisa ogutambuza obuwuka okubuyingiza munda mu mubiri gwo naddala nga buyita mu bitundu byekyama ng'onaaba.

 njala ennyimpi nga zino ziyonjeka Enjala ennyimpi nga zino ziyonjeka

 

Enjala empanvu zisala ne zireeta amabwa agasobola okuyitamu obuwuka obuleeta endwadde eziva ku bucaafu n'ezo ez'obukaba okugeza akawuka ka siriimu ssinga obeera weegasse n'omuntu akalina.

Endwadde endala eziyinza okukwata ssinga obeera tolongoosezza njala zo bulungi kuliko: kkolera, okuddukana, omusujja gw'omu byenda, Hepatitis A (eno ekwata omuntu alidde ekyokulya ekiriko obuwuka) n'endala.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...

Basse owa S3 ne balagirira ...

ABATEMU babuzizzaawo omuwala owa S3 okuva mu maka ga bakadde be ne bamusobyako oluvannyuma ne bamutta, omulambo...

Luzinda

Desire Luzinda tatudde!

OMUYIMBI Desire Luzinda abamu gwe baakazaako erya ‘Kitone’ naye nno tatuula. Bwe yabadde agogera ku bulamu bwe...

Kenzo

KENZO: Ayambalidde abamulan...

BWE yatuuse ku bamuvuma olw’okusisinkana Pulezidenti Museveni n’okumulangira okulya ssente, Kenzo yakangudde ku...