TOP

Ennaku z'olina okuterekera ebyokulya mu firiigi obutafuuka butwa

Added 19th April 2019

Genderera ebyokulya by'ossa mu firiigi byandifuuka eby'obutwa ate n'ofunamu ndwadde

 Firiigi ejjudde ebyokulya

Firiigi ejjudde ebyokulya

Bya Prossy Nababinge

Tekikwewuunyisa ng'ebyokulya bye wasuubira okulwawo okwonooneka mu fiirigi yo ate byonoonese mu nnaku entono ddala. Okwewala okufiirizibwa n'endwadde eziva ku byokulya bino okuzaala obuwuka, Dr. Paul Mawaali, owa Herona Hospital akulaze ebyokulya ebitali bimu n'ebbanga ly'olina okubikuumira mu firiigi yo.

Bbanga ki ly'olina okuterekera ebyokulya byo mu firiigi?

Ebyennyanja biterekemu olunaku lumu

Ebibala ennaku bbiri

Enva endiirwa wakati w'ennaku ssatu ne nnya

Ennyama wakati w'ennaku biiri n'e ssatu

 nnyama terina kusussa nnaku bbiri mu firiigi Ennyama terina kusussa nnaku ssatu mu firiigi

 

Sosegi ennaku ssatu

Saladi wakati w'ennaku bbiri ne ssatu.

Amata tegasussa nnaku nnya

Ebirala by'otalina kutereka mu firiigi

1. Butto akwata n'afa empooma.

2. Wootameroni gy'otonnasalamu

3. Ovakkedo atannayengera bw'omussaamu alwawo okwengera, wabula ayengedde kiyinza okumulwisaawo okwonooneka. Bw'oba omusazeeko mukamulireko enniimu olyoke omuteekemu.

4. Obutungulu ne katunguluccumu buwunyisa buli ekibeera mu firiigi.

5. Vinegar ne tomato soosi

6. Amenvu nago obunnyogovu bwa firiigi bugoonoona.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....