TOP

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa mu ddwaaliro

Added 24th June 2019

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

 Dr. Ntwali ng'alaga bw'ogalamiza azirise ku mugongo gwe

Dr. Ntwali ng'alaga bw'ogalamiza azirise ku mugongo gwe

Bya Norah Mutesi  

Ebintu bingi ebireetera omuntu okuzirika. Okugeza, ssinga obeera tolidde mmere ate n'ogenda okukola dduyiro osobola okuzirika, ssinga obeera tolina musaayi n'ebirala bingi. Abasawo bannyonnyola ku nsonga eno:

Cephas Ntwali, omusawo ku St. Mary's Family Clinic agamba nti omuntu azirise mwebase kyabugazi omusaayi gusobole okutuuka ku bwongo ne mu bitundu by'omubiri ebirala.

Muwanike amagulu okugeza ku butto asobole okudda engulu amangu n'omusaayi okutambula mu mubiri amangu.

Ekintu kyonna ekibeera ku mubiri gw'omuntu oyo nga kimukutte okugeza lugoye, ettaayi, sitokisi n'ebirala, oteekeddwa okukisumulula, asobole okufuna empewo obulungi.

Awantu awagalamiziddwa omuntu azirise wateekeddwa okuba nga tewali bantu bangi, asobole okufuna empewo ennungi.

 r twali ngalaga bwowanika amagulu gazirise ku butto okumuyamba omusaayi gutambule bulungi ate mu bwangu Dr. Ntwali ng'alaga bw'owanika amagulu g'azirise ku butto okumuyamba omusaayi gutambule bulungi ate mu bwangu

 

Bw'aba mulwadde wa nsimbu, muteeke ekigiiko mu kamwa kimuyambe obuteeruma lulimi.

Okubirizibwa okuyita omusawo mu bwangu, kubanga y'asobola okunnyonnyola ekituufu ekivuddeko omuntu oyo okuzirika.

Ssinga omuntu abeera awonye, muleke awummule okumala ebbanga, era omuyambeko okuteeka okugulu kwe ku kulala ng'akufunyizzaako.

Abalwadde ba sukaali bakubirizibwa okutambula so si kutandika na kudduka.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...