TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Disitulikiti y'e Mubende y'esingamu omuwendo gw'abawala abazaala nga tebanneetuuka mu Buganda

Disitulikiti y'e Mubende y'esingamu omuwendo gw'abawala abazaala nga tebanneetuuka mu Buganda

Added 16th July 2019

Nnaabagereka Sylvia Nagginda avuddeyo okudduukirira abaana abazaala nga tebanneetuuka basobole okwanguyirwa ku bulamu obwabulijjo.

 Obutimba obwaweereddwa aba Nnaabagereka Development Foundation

Obutimba obwaweereddwa aba Nnaabagereka Development Foundation

Bya Lilian Nalubega

Disitulikiti y'e Mubende enokoddwaayo ng'emu ku zisinze okubeeramu omuwendo gw'abaana abawala abazaala nga tebanneetuuka ku disitulikiti 10 ezaakakasiddwa okubaamu ekizibu kino mu Buganda.

Abaana abawala abatanneetuuka abasoba mu 30,000 be bazaala buli mwaka nga disitulikiti y'e Mubende y'esingamu ekizibu kino n'eddirirwa Buikwe, Kyaggwe, Gomba n'endala.

Akulira ekibiina kya Nnaabagereka Development Foundation, Adrian Mukiibi yategeezezza nti ku kunoonyereza kuno Nnaabagereka Sylvia Nagginda  kwe yasinziira n'atandika kaweefube ow'okulaba ng'abaana abawala abazaala nga tebanneetuuka bayambibwako n'ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo.

 ynthia panga owa tandard hartered ank ngakwasa abakungu ba  obutimba bwensiri Cynthia Mpanga owa Standard Chartered Bank ng'akwasa abakungu ba NDF obutimba bw'ensiri

 

Ono ng'ayita mu kitongole kye eky'okwekulaakulanya ekya Nnaabagereka Development Foundation, azze asaka emikwano era ku Mmande, Bbanka ya Standard Chartered yabadduukiridde n'obutimba bw'ensiri obwasobye mu 230 nga buno bubalirirwamu obukadde obusoba mu munaana, era omukolo gwabadde mu woofiisi y'ekitongole kino ku Bulange -  Mmengo nga gwetabiddwaako n'akulira Majestic Brands, Ronald Kawadwa.

Abakungu ba Standard Chartered Bank baakulembeddwamu, Cynthia Mpanga eyategeezezza nga bbanka eno bwe yalina enteekateeka ey'okubunyisa obutimba mu bantu olw'okulwanyisa omusujja gw'ensiri naddala mu bakyala abazaala kyokka nti newankubadde yakomekkerezebwa si baakukoma ku Nnaabagereka mu nteekateeka z'alina okulaba ng'obutimba obumuweereddwa abukozesa okuyamba abantu b'Omutanda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...

Abakuumaddembe nga batwala omulambo gw'omukazi eyattiddwa.

Ab'e Nansana beeraliikirivu...

Abatuuze b'e Nansana beeraliikirivu olw'abantu abazze bawambibwa ate oluvannyuma ne basanga nga battiddwa mu bukambwe....

Bebe Cool.

Bebe Cool alabudde Nubian L...

Bebe Cool alabudde omuyimbi Nubian Lee ne Pulodyusa Dan Magic n'abasaba okukomya okwenyigira mu bikolwa ebisoomooza...