TOP

Abasajja muve ku biragalalagala mwettanire biryo na ssunsa

Added 17th July 2019

Abanoonya amaanyi g'ekisajja mwettanire ebiro n'essunsa musigale nga muli balamu ate nga musaza kimu

 Omulimi ng'alaga ensujju n'essunsa  ebyomugaso eri obulamu bw'omuntu

Omulimi ng'alaga ensujju n'essunsa ebyomugaso eri obulamu bw'omuntu

Bya Stella Naigino

Ebiseera ebisinga abantu baagala okulya ebintu ebirimu amasavu nga ennyama, enkoko n'ebirala nga kino bakiyita kulya bulungi, olwo emmere nga ensujju ne batagifaako, naye abakugu bagamba nti, ekyo bakola nsobi.

Jamil Mpiima, omukugu mu by'emmere agamba nti ensujju y'emu ku mmere abantu bonna gye balina okwettanira olw'ebirungo ebigirimu nga bino bikuuma omubiri nga mulamu. Mu bino mulimu:

biryo ebirina okwettanirwa abasajjaEbiryo ebirina okwettanirwa abasajja

 

Zinc: Ekirungo kya Zinc kiyamba omubiri okutambuza omusaayi era abakyala abali embuto bakyetaaga kuba kiyamba okukuza omwana mu lubuto nga mulamu.

Vitamiini C: Ensujju erina ekirungo kya Beta carotene nga kino omuntu bw'amala okugirya, omubiri gukikuba ne gukolamu Vitamiini C eguyamba okulwanyisa endwadde ez'enjawulo nga ez'olususu, puleesa n'ebirala.

nsujju nnungi ku mwana ali mu lubuto  Ensujju nnungi ku mwana ali mu lubuto

 

Okufuluma obulungi: Chris Mwanje, naye mukugu mu by'emmere agamba nti omuntu yenna alya ensujju emuyamba okufuluma obulungi nga kino kiyamba okukuuma ekyenda kya ssebusa nga kiramu ddala.

Ebiryo n'enva endiirwa: Essunsa likola enva endiirwa ennungi era zino bw'ozigatta n'ebiryo byazo kikolera ddala amakulu.

Ebiryo biyamba abaami abanafu okwegaganula ssinga obeera ozeemanyiizizza okuzirya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Okello Kalule.

Omulimi by'olina okukola ok...

MU Uganda mulimu ebika by'ebinyeebwa ebisukka mu 26 nga buli kimu kisobola okudda kumpi mu buli kitundu kya ggwanga...

Kigoonya.

Nze nnindiridde buwanguzi -...

Bya Vivien Nakitende Angella Kigoonya Namyalo eyeesimbyewo ku bwameeya bwa munisipaali y'e Lubaga ku kaadi ya...

Mberaze aleebya Ssebuggwaawo.

Ebya Mmeeya Ssebuggwaawo bi...

We buzibidde ng'okubala obululu mu bitundu bya Lubaga South eby'enjawulo kulaga nga Munna NUP, Zachy Mawula Mberaze...

Nga bateeka omulambo gwa Bisaka (ku ddyo) mu nnyonyi okugutwala e kapyemi. Eyeeyita Katonda alese ebyafaayo.

Eyeeyita Katonda alese ebya...

ENTEEKATEEKA z'okuziika Owobushobozi Bisaka ziri mu ggiya. Omulambo gwe okuva e Nairobi gwaleeteddwa mu nnyonyi...

Ggaadi eziwedde okukola.

Okwokya ggaadi za bodaboda ...

BW'OZITUNUULIRA kungulu oyinza okulowooza nti ziggyibwa bweru wa ggwanga olw'endabika yaazo ennungi. Ggaadi zino...