TOP

Eddwaaliro ly'e Mukono liweereddwa ebikozesebwa mu sweeta

Added 25th July 2019

Ab'eddwaaliro ly'e Mukono basambira mabega nga jjanzi oluvannyuma lw'okuweebwa ebyuma ebikozesebwa mu sweeta okuva mu kkanso y'ekibuga Mukono

 Abasawo nga baggya omulwadde mu sweeta okumutwala mu woodi

Abasawo nga baggya omulwadde mu sweeta okumutwala mu woodi

Bya Eric Yiga

Eddwaaliro lya Gavumenti erya Mukono Health Center IV lifunye ebyuma ebyeyambisibwa mu kulongoosa nga bino biweereddwaayo olukiiko olutwala ekibuga Mukono olukulemberwa Meeya Fred Kagimu.

Mu biweereddwaayo mubaddemu ekitanda ekyeyambisibwa mu kulongoosa, ebitaala, makansi, kabada ezitereka ebiwandiiko n'ebintu ebirala nga byonna byabaliriddwaamu obukadde 36.

 r konde ngalaga ebyuma ebyaweereddwa eddwaaliro ebifumbirwamu ebyuma mu sweeta Dr. Kkonde ng'alaga ebyuma ebyaweereddwa eddwaaliro ebifumbirwamu ebyuma mu sweeta

 

Bw'abadde abakwasa ebyuma bino, Meeya George Kagimu yagambye nti, baagala kulaba nga gavumenti erinnyisa eddaala ly'eddwaaliro lino okuva ku Health Center IV okutuuka ku ddaala erisingawo kuba abantu bangi abalikozesa. Abakyala abasoba mu 7,000 be bazaalira mu kifo kino buli mwaka, era n'agattako nti buli mwaka baakwogera okuteeka ssente mu byobulamu.

Yagenze mu maaso n'asiima akulira eddwaaliro lino, Dr. Geoffrey Kasirye ne banne baakola nabo olw'okukola obutaweera mu mbeera enzibu naye ne baweereza abantu mu bwesimbu n'omutima gumu ng'ebikozesebwa bitono.

 kizimbe ekipya ekizimbibwa ku ddwaaliro lino Ekizimbe ekipya ekizimbibwa ku ddwaaliro lino

 

Akulira ebyobulamu mu kibuga Mukono, Dr. Anthony Kkonde yategeezezza ng'ebintu bye babadde bakozesa bwe bibadde ebikadde nga baabifuna mu 2005 bwe baali baggulawo sweeta.

Kkonde agenze mu maaso n'ategeeza ng'abakyala abali wakati wa 20 - 30 be bazaalira mu kifo kino buli lunaku ku bano abakyala 3 - 5 be balongoosebwa.

Agenze mu maaso n'anokolayo ebizibu ebirala bwe balina omuli: obufunda bw'ekifo awazaalirwa, obutono bw'abasawo n'obutaba na bitanda bimala.

eeya eorge red agimu ku ddyo ngakwasa abakulira eddwaaliro lya avumenti e ukono r nthony konde amuddiridde ne r eoffrey asirye ku kkono nabasawo abalala ebyuma ebyabaweereddwayo kkanso yekibuga kinoMeeya George Fred Kagimu (ku ddyo) ng'akwasa abakulira eddwaaliro lya Gavumenti e Mukono Dr. Anthony Kkonde amuddiridde ne Dr. Geoffrey Kasirye (ku kkono) n'abasawo abalala ebyuma ebyabaweereddwayo kkanso y'ekibuga kino

 

"Gavumenti yatuwaayo ebitanda 20 mu waadi y'abazadde empya kwe twayongereza ebyaffe bye twalina munaana wabula nga bino era bikyali bitono kuba abakyala abazaala bangi," Dr. Kkonde bwe yategeezezza.

Yannyonnyodde embeera gye bayitamu mu mateneti abakyala gye bazaalira gye yagambye nti, balinayo ebitanda bibiri byokka mpozzi n'ekimu eky'amagyenjeeke kye bakozesa okusobola okwetaasa ku mbeera nga tebaagala bakyala kufa nga bazaala.

 Agamba nti, n'eddagala lye bafuna mu kiseera kino terimala muwendo gw'abalwadde be bafuna.

 bamu ku balwadde nga batudde awatuukirwa ku ddwaaliro mu kiseera kino Abamu ku balwadde nga batudde awatuukirwa ku ddwaaliro mu kiseera kino

 

Mu bisoomooza ekifo kino ebirala mulimu; ebyuma n'ebifo we bajjanjjabira abalwadde b'amaaso n'okukuula amannyo kye yagambye nti, nakyo kikyali kyakusoomooza kya maanyi gye bali kuba abantu bangi balina ebizibu kyokka bajja ne bavaawo nga tebafunye buyambi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...