TOP

Temwenyigira mu kubba eddagala lya Gavumenti

Added 24th September 2019

Abasomeredde obujjanjabi bakubiriziddwa okwewala emize gy'obubbi bw'eddagala mu malwaliro okutaasa Bannayuganda abatalina busobozi kwejjanjabisa mu malwaliro aga ssente

 Polof. Badru Kateregga ng'ayogera eri abasawo

Polof. Badru Kateregga ng'ayogera eri abasawo

Bya Lilian Nalubega   

Abasomesa b'abasawo mu ttendekero ly'abasawo erya Kampala University School of Nursing and Midwifery e Mutundwe beegasse ku mutandisi waalyo Polof. Alhajji Badru Kateregga ne bavumirira abasawo abalekeredde ogw'obujjanjabi ne badda mu kukukusa eddagala lya gavumenti ekivaako abantu bangi okufiirwa obulamu bwabwe.

Abasomesa bano nga bakulemberwa akulira ettendekero lino, Robinah Nakijoba bakkaanyizza kimu n'omutandisi waalyo ne bategeeza nti, bino biva ku basawo abafuluma mu matendekero nga tebayize mulimu gwabwe n'amateeka agagufuga n'ekiddirira kwe kufa ku nsimbi ze balina okufuna okusinga okujjanjaba abantu.

"Omusawo omutendeke tayinza kukukusa ddagala Gavumenti ly'eteeka mu malwaliro okujjanjaba abantu baayo n'alitwala mu kalwaliro akake gye basaba abantu ensimbi empitirivu.

Abantu abamu tebalina zisasula malwaliro ng'ago, era kyennyamiza okulaba ng'abasawo be bamu balagira abalwadde okugenda mu bulwaliro bwabwe nga beerimbika mu kubanga eyo ye wali abakugu ekitali kituufu," bwatyo Polof. Kateregga bwe yagambye.

Yabadde ayanjula enteekateeka ey'okufulumya abasawo 500 okuva mu ttendekero lino ku mukolo ogugenda okubeerawo ku Lwokuna lwa wiiki eno e Mutundwe.

Yategeezezza nti, Gavumenti esaana eveeyo n'omukono ogw'ekyuma ekangavvule abasawo abagwa mu ttuluba lino era n'alabula abasawo abafuluma okuva mu ttendekero lye obutagezaako kumuvumaganya naddala mu kiseera kino ng'aluubirira okutandikawo enkola ey'okusomesa bannansi amasomo agatabaddeewo kuno batandike n'okujjanjaba endwadde abantu ze balowooza nti nkakali.

Guno gwe gugenda okuba omulundi ogwokuna nga Kampala University efulumya abasawo era nga kati yaakafulumya abasawo 1,500 nga bano bonna baweereza mu malwaliro ga Gavumenti n'abalala bakolera ebweru w'eggwanga.

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....