
Ivan Otim owa Gifted Hands n'omu ku bakyala be bagenda okuyigiriza obusawo bw'okukebera kookolo w'amabeere
Bya Ruth Nazziwa
Nga tuli mu mwezi gw'okubunyisa enjiri ku kookolo w'amabeere, minisitule y'ebyobulamu wamu n'ekitongole ekikumaakuma bamuzibe n'okubunyisa enjiri ku kookolo w'amabeere ekya Gifted Hands batandise kaweefube w'okukunga abantu okwekebeza obulwadde buno n'ekiruubirirwa ky'okulaba ng'omuwendo gw'abantu abafuna kookolo w'amabeere gukendeera.
Ivan Otimu owa Gifted Hands agamba nti, ekisinga okwennyamiza, abantu abasinga obungi tebamanyi kwekebera kookolo w'amabeere ate nga n'okwekebeza tebakikola. So nga bw'otegeera amangu ebimukwatako kikuyamba okubuziyiza n'obujjanjabi bwangu naddala ng'omutegeera tannasaasaana.
Mu mbeera eno, ekitongole kya Gifted Hands kitandise kaweefube w'okusomesa bamuzibe obusawo nga basobola okuyambako mu kukebera abantu kookolo w'amabeere kubanga amaaso gaabwe gasobola okulaba okusinga ag'abalala.
Okunoonyereza kulaga nti, olw'okuba abantu ab'ekikula kino basobola okusoma nga bakozesa obwongo bwabwe, ssaayansi ataddewo embeera okulaba nga basobola okufuna obutoffaali bwa kookolo obusingayo obutono n'omusawo bwatasobola kutuukako mangu ekinaatusobozesa okuzuula obulwadde buno nga bukyali n'emikisa gy'okuwona gibeera mingi.
Kino kyakuyambako okukendeera ku muwendo gw'abantu abatuuka mu ddwaaliro nga kookolo akuze nga n'omusawo takyasobola kutaasa bulamu bwe.
Baategese ekyeggulo kwe bagenda okusondera ssente ez'okusomesa abasawo bamuzibe ku kivvulu kye bayise ‘Dinner in the dark' ku Sheraton Hotel nga 18 ng'okuyingira kwa 100,000/-. Era ng'okusomesa ku bulwadde buno n'okukebera kookolo w'amabeere ku bwereere.