
Omwana ng'alya eggi
Bya Prossy Nababinge
Omusingi gw'obulamu obulungi eri omwana gwesigama ku bintu omuzadde by'amuliisa. Kino kibeera kitegeeza nti, ng'omuzadde okumanya ekituufu eky'okuliisa omwana wo y'emu ku ngeri gy'osobola okukakasa nga ne mu bukulu bwe alibeera mulamu bulungi.
Nga twetegekera okujaguza olunaku lw'amagi olubeerawo buli lwa October 11 mu nsi yonna, Sr. Molly Busingye, akulira abasawo mu ddwaaliro lya KCCA erya Kiswa Health Centre III annyonnyola nti, eggi y'emu ku mmere esinga omugaso naddala mu bulamu bw'omwana gy'otoyinza kubuusa maaso.

Annyonnyola nti, enjuba y'eggi yokka erimu ekiriisa ekizimba omubiri, obwongo, enviiri, amaaso n'akasusu akalungi mu baana.
Osobola okulikubira mu byokulya ng'obuugi ssinga omwanawo abeera tayagala kulya.
Akkaatiriza nti, omuzadde yenna yandibadde atandisa omwana okulya eggi ng'awezezza emyezi mukaaga era ssinga omwana yenna asubwa okulya eggi mu buto bwe, kiyinza n'okukosa engeri gy'akulamu nga kw'otadde n'engeri obwongo bwe gye bukwata mu bukulu bwe.