TOP

Abakulira ebyobulamu e Bukomansimbi basattira lwa kafuba

Added 11th October 2019

Ab'ebyobulamu n'abakulembeze e Bukomansimbi beeraliikiridde olw'omuwendo gw'abakwatibwa akafuba okulinnya

 Abamu ku bantu abaasangiddwa ku ddwaaliro e Butenga

Abamu ku bantu abaasangiddwa ku ddwaaliro e Butenga

Bya Phiona Nanyomo

Abakulira ebyobulamu n'abakulembeze mu disitulikiti y'e Bukomansimbi bali mu kutya olw'omuwendo gw'abantu abalina obulwadde bw'akafuba okweyongera mu kitundu kino.

Kino kiddiridde obulwadde buno okusaasaana olw'ababulina obutagenda mu malwaliro kufuna bujjanjabi.

Amyuka akulira ebyobulamu era nga y'avunaanyizibwa ku nteekateeka z'okujjanjaba obulwadde bw'akafuba mu Bukomansimbi, Julius Musibula agamba nti okunoonyereza kulaga ng'eddwaaliro lya Butenga Health Center IV bafuna abalwadde b'akafuba 200 buli mwaka nga ku bano 120 be bafuna obujjanjabi ate 80 ne basigalayo mu byalo nga tebafunye bujjanjabi olwo ne babusaasaanya.

Agamba nti, obulwadde buno tebukwata balina kawuka ka siriimu bokka, ng'abantu abamu bwe balowooza.

 musawo ngategeka eddagala lye bagabira abalwadde ku ddwaaliro e utenga Omusawo ng'ategeka eddagala lye bagabira abalwadde ku ddwaaliro e Butenga

 

Annyonnyola nti, ebimu ku bireetedde obulwadde buno okweyongera gwe mugotteko mu kitundu kino nga n'abamu bakafunira mu birabo by'omwenge gye bagabanira bye banywerako nabo abalina obulwadde buno.

Dr. Richard Mulindwa, omusawo ku ddwaaliro lya Butenga Health Centre IV agamba nti, wadde abantu bangi bakeberebwa obulwadde buno ne batandisibwa ku ddagala ate abamu balivaako ne badda mu kwekatankira mwenge n'okunywa sigala ne bamaliriza nga bafudde.

Agamba nti, akafuba ka bika bya njawulo okuli: akakwata mu magumba, ow'okukolola wabula nga bwonna bukambwe era butta nga tewejjanjabisizza.

Baakubirizza abantu okujjumbira okwekebeza balabe oba tebannakafuna ate abakalina bajjanjabwe.

Ssentebe wa disitulikiti eno, Muhammad Kateregga, yagambye nti disitulikiti egenda kuteeka 30,000 eza ddoola mu kulwanyisa akafuba n'okusomesa abantu ebikwata ku bulwadde buno kibasobozese okubumalawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....